TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abazannyi ba Cranes babawadde ebiragiro okutangira Corona Virus

Abazannyi ba Cranes babawadde ebiragiro okutangira Corona Virus

Added 18th March 2020

Abazannyi ba Cranes babawadde ebiragiro okutangira Corona Virus

 Omutendesi wa Cranes, Johnathan McKinstry ng’awa abazannyi ebiragiro gye buvuddeko.

Omutendesi wa Cranes, Johnathan McKinstry ng’awa abazannyi ebiragiro gye buvuddeko.

MU kaweefube w'okutangira ekirwadde kya coronavirus okuyingira mu nkambi ya Cranes, abazannyi n'abatendesi babataddeko amateeka amakakali. Cranes eyeetegekera empaka za CHAN ezisuubirwa e Cameroon omwezi ogujja, esuzibwa mu Cranes Paradise Hotel e Kisaasi n'oluvannyuma n'etendekerwa ku kisaawe kya GEMS Cambridge International School e Butabika.

Agava mu nkambi galaga nti FUFA ng'ekolera ku biragiro bya minisitule y'ebyobulamu, yasazeewo ku buli luggi lw'akasenge abazannyi mwe basula, waliwo obucupa omuli eddagala eritta obuwuka nga buli muzannyi alina okusooka okubukozesa okuziyiza coronavirusKuno baayongeddeko obutakkiriza buli muntu kuyingira mu nkambi okuggyako nga wa nkizo nnyo ku ttiimu eno ate nga naye agondera ebiragiro bino. Okwekwata mu ngalo nakwo kuwereddwa ng'omuzannyi bw'aba abuuza munne, akozesa 'kubonga'.

Embuuza y'okwegwa mu kifuba nayo yagaaniddwa nga kati abamu bakozesa bubonero (ssayini). Omuzannyi omu ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yategeezezza nti baasoose kukaluubirirwa nga beerabira ne bakwatagana mu ngalo nti kyokka kati embeera bagimanyidde era tebagirinaako buzibu.

"Oli ne bw'ateeba, buli omu asanyukira w'ali nga tewali kwegwa mu kifuba nga bwe kibadde nga bino tebinnabaawo," omuzannyi wa Cranes bwe yakkaatirizza. Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yakakasizza nti embeera eno mu nkambi ya Cranes n'agattako nti, "Abazannyi bonna bagoberera bulungi ebiragiro.

Ebiragiro bya Gavumenti buli muntu by'ateekwa okussa mu nkola. Naffe twaddukiddewo okugula ebikozesebwa okulaba nga tutangira abazannyi baffe okukwatibwa ekirwadde kino." Wiiki wedde, CAF, ekibiina ekiddukanya omupiira mu Afrika kyayimirizza emipiira gy'okusunsulamu egy'empaka za Afrika lwa coronavirus kweyongera kusasaana mu nsi.

Cranes ebadde ekyaza South Sudan nga March 28 e Namboole baddihhane nga April 2. MOROCCO EBIVUDDEMU Bakyampiyoni b'empaka za CHAN, Morocco baalangiridde nga bwe bavudde mu mpaka zino ezirina okuzannyibwa e Cameroon wakati wa April 5-25. Wabula FUFA yagaanyi okusattulula enkambi ya Cranes okutuusa nga CAF egibuulidde ekiddako ku mpaka za CHAN

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....