TOP

Bakitunzi batabukidde ttiimu za Premier

Added 26th March 2020

Bakitunzi batabukidde ttiimu za Premier

 Mino Riola kitunzi wa Pogba

Mino Riola kitunzi wa Pogba

OBULWADDE bwa coronavirus we bunaggweera mu nsi nga buli muntu ali ku bunkenke. Mu Premier, ttiimu zaayo zibadde zikyekubagiza olw'okuba tezikyazannya mipiira olw'obulwadde buno okusaasaana mu nsi yonna, ate bakitunzi b'abazannyi ne basitula enkundi.

Bano bategeka kugenda mu kkooti olwa ssente zaabwe ezitannabasasulwa ku bazannyi be baatunda mu kiraabu naddala ennene. Bano babanja obukadde bwa pawundi obusoba mu 30 ze bagamba nti tebagenda kuzireka kugendera awo wadde nga ttiimu zinaaba tezizannya.

Emipiira gyonna mu Bungereza mu liigi ez'enjawulo gyayimirizibwa olwa coronavirus era ttiimu tezikyalina mwe ziggya ssente ekizitadde mu kattu k'ebyenfuna. Mino Raiola, kitunzi wa Paul Pogba y'akulembeddemu banne okubanja ssente zaabwe ng'agamba nti babanja ssente nnyingi ate nabo balina ebyetaaga.

Amateeka galagira kitunzi okulya ebitundu 5 ku 100 ku muzannyi gw'atunze kyokka nga ne kw'oyo, azzizza obuggya endagaano ye era amateeka gawa kitunzi enkizo okulya omutemwa gwe gumu. Wabula etteeka lino Raiola taligenderako kuba ku ddiiru ya Pogba ng'ava mu Juventus okujja mu ManU, yagiryako obukadde bwa pawundi 41.

Okuva mu February wa 2018 okutuuka mu January wa 2019, Liverpool ye ttiimu ya Premier esinze okusaasaanya ssente ennyingi ku bakitunzi era mu kaseera kano ebanjibwa obukadde bwa pawundi 43.8, Chelsea ekwata kyakubiri ku bukadde bwa pawundi 26.8 olwo Man City n'ekwata ekyokusatu.

Waliwo bakitunzi abaagala okusonyiwa ttiimu entono ssente ze bazibanja nga bagamba nti tezirina ssente ate ng'essaawa yonna ziyinza okusalwako wabula ku ttiimu ennene, bakitunzi bano bagaanyi okuttira ku liiso nga bagamba nti ziyingiza omudidi era mu kittavvu zaazo mulimu ssente eziwera. Wano we basinzidde okusitula enkundi babanje ssente zaabwe.

BAKITUNZI ABASINGA OKULYA KU SSENTE ZA PREMIER;

Jorge Mendes; Ono nzaalwa ya Portugal era nga ye kitunzi wa David De Gea ggoolokipa wa ManU y'omu ku bakitunzi abasinga okubanja ssente ennyingi. Ng'oggyeeko De Gea, Mendes ye kitunzi wa Jose Mourinho omutendesi wa Spurs.

Ku bano agattako abazannyi ba Wolves 12 ssaako omutendesi waayo, Nuno Espirito Santo ne bassita abalala okuli; Edersen, Bernardo Silva, Nicolas Otamendi, Joao Cancelo aba Man City. Mino Raiola; Ono takyalina bazannyi b amannya bali mu Premier okuggyako Pogba kyokka abazannyi b'abaddeko nabo kuliko; Mario Balotelli, Zlatan Ibrahimovic, Henrikh Mkhitaryan n'abalala kyokka nga bano abaliddemu omusimbi ogutagambika. Jonathan Barnett ono ye kitunzi wa Gareth Bale owa Real Madrid ssaako abazannyi abalala okuli; Luke Shaw (ManU), Jesse Lingard (ManU) ne Jordan Pickford (Everton) n'abazannyi abalala.

Kia Joorabchian; Ono ajjukirwa nnyo mu ddiiru ya Carols Tevez eyacankalanya Sir Alex Ferguson era gye byaggweera nga bali mu lutalo. Omukulu ono talina layisinsi emukkiriza kukola bwakitunzi era ye agamba nti awa bazannyi magezi. Ono azze yeenyigira mu ddiiru z'abazannyi okuli; Oscar eyali mu Chelsea, Tiemoue Bakayoko owa ttiimu y'emu sso nga y'akutula ne ddiiru za David Luiz kati ali mu Arsenal.

Pini Zahavi; Ono naye takyalina bazannyi ba mannya b'anoonyeza katale kyokka ajjukirwa mu ddiiru ya Rio Ferdinand okuva mu West Ham okugenda mu Leeds sso nga era ye yamutunda mu ManU ku bukadde bwa pawundi 30.

Ye yali emabega w'okugulira Chelsea abazannyi nga Roman Abramovich yaakagigula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...

Badayirekita ba KCCA babiri...

YINGINIYA Andrew Mubiru Kitaka alekulidde emirimu gy’abadde akola mu kitongole kya KCCA. Ono nga y’abadde avunaanyizibwa...