TOP

Wuuno omukazi aguze ttiimu ya Premier

Added 17th April 2020

AMANDA Louise Staveley ye mukazi emmekete, eyaguze Newcastle.

 Amanda eyaguze Newcastle

Amanda eyaguze Newcastle

Bw'etaabe ntaanya, essaawa yonna ebiwandiiko ebyabagiddwa ebirimu bye bakkiriziganyizzaako, byandissibwako omukono abadde omugagga Mike Ashley wadde abamu ku batunuulizi bagamba nti, Ashley yandyefuula, olwo Staveley n'akoma ku njokye.

Kyonna kye kiri, Staveley alaze nti si wa bulijjo kuba okuva mu 2017, azze alamuza Newcastle ng'assaawo obukadde bwa pawundi 300 okugigula.

Zino, Ashley yasooka kuzigaana ng'ayagala obukadde bwa pawundi 340 wabula ku luno agenze okulaba ng'embeera y'ebyenfuna eseebengerera mu kaseera kano ak'obulwadde bwa COVID-19, n'agiwaayo bagigule.

Mu Premier, Newcastle ya 13 era okutundibwa kwayo kujjidde mu kiseera ng'abawagizi bakulindiridde kuba baludde nga balumiriza Ashley obutaba na biruubirirwa bya ttiimu ate bwe gwatuuse mu kadde kano ak'ekirwadde kya coronavirus n'awaayo abakozi be eri Gavumenti ya Bungereza y'eba ebasasula omusaala, ne gujabagira.

Staveley wa myaka 47, nzaalwa y'e Bungereza kyokka amakanda yagakuba Dubai. Mutetenkanya ng'akoze emirimu egy'enjawulo nga yatandika na kutunda mmere, akozeeko obwammodo n'obwabbulooka.

Eby'okusoma, diguli teyagimaliriza olw'okutawaanyizibwa ebirowoozo kwe yalimu nga jjajjaawe afudde kyokka bwe yalinga ku yunivasite, yakolanga obwammodo, n'afuna ensimbi.

YEEWOLA ENSIMBI

Ng'ebyokusoma abivuddeko, yeewola pawundi 180,000 n'atandika ekirabo ky'emmere ku kyalo Bottisham, Cambridgeshire era yeenyigiranga mu kugifumba ate nga n'okugiweereza akikola.

Bino yali abikola, nga bw'asomayo kkoosi ku nkwata ya ssente ate ng'era n'obwammodo yabutwala mu maaso afune ensimbi eziwera. Ekirabo ky'emmere kino, abantu ab'enjawulo baakyeyuniranga era n'Abalangira b'e Saudi Arabia n'abagagga b'omu Dubai baayitirangayo.

We yafunira omukisa, okukwatagana n'abagagga b'omu kirombe kya Buwalabu, b'azze akatula nabo ddiiru ezirimu obuwanana bw'ensimbi.

YALI MU DDIIRU YA BARCLAYS BANK

Mu Bungereza, yeenyigira mu bizinensi ez'enjawulo wabula ezimu ne zigwa. Yaddukira mu Dubai ng'alina b'akolagana nabo mu Abu Dhabi ne mu Middle East yonna okutwalira awamu.

Eno gye yava okukwatagana n'abantu ab'amaanyi mu bizinensi era kigambibwa nti ye yawabula Sheikh Mansoor okussa bbiriyooni za pawundi 3.5 mu bbanka ya Barclays mu 2008, mu kiseera Bungereza we yafunira obuzibu mu byenfuna nga bbanka ezimu zaali zeetaaga bazzizza ngulu.

Olw'ensimbi zino Sheikh Mansoor ze yassaamu, yagifunako obuyinza bwa bitundu 16 era n'akola amagoba ga bbiriyooni za pawundi 2.25. Wano Staveley yalyawo obukadde bwa pawundi 30 olw'obwabbulooka bwe yakola.

EZA MAN CITY YAZIRYAKO

Era mu 2008, Staveley ye yali emabega wa ddiiru ya Sheikh Mansoor, okugula Man City obukadde bwa pawundi 210.

Kigambibwa nti wano, yalyawo obukadde bwa pawundi 10. Yeenyigira ne mu ddiiru ya Sheikh Mohammed bin Rashid Al Maktoum okugula emigabo gya bitundu 49 mu Liverpool wadde ng'eno yagwa butaka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...