TOP

Liigi ya ttiimu 12 erina okutandika - Magogo

Added 17th April 2020

FUFA ereeta enkyukakyuka mu liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League okuva ku ttiimu 16 okudda ku 12, okutandika mu sizoni ya 2021-22. Ttiimu mukaaga (6) zaakusalwako liigi esigalemu 10, oluvannyuma basuumuse 2 okuva mu Big League okuweza 12.

 Ying. Magogo

Ying. Magogo

Mu nteekateeka eno, ttiimu ez'enjawulo zaakwezannya emirundi esatu okuva ku bbiri egibaddewo ng'eneesinga okukola obulungi y'ejja okukyaza olwokusatu. FUFA era ereeta 'Reserve League' nga buli ttiimu ya 'Super' erina okubeera n'eyaayo. HUSSEIN BUKENYA yayogeddeko ne pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo ku nsonga zino.

Oleese ebintu bingi nga babisimbira ekkuuli naye n'obiremerako. Lwaki?

Ng'onoofuuka omuwanguzi olina okukola enkyukakyuka, okuggyako ng'oli mumativu n'ebigenda mu maaso.

Omuwandiisi Albert Einstein yategeeza nti okukola ekintu ekimu buli kaseera n'osuubira obuwanguzi obaweerimba. Tukimanyi nti waliyo abawakanya buli FUFA ky'ereeta kuba tebaagala nkyukakyuka naye tukikola lwa bulungi bwa mupiira. Bwe tuba tukimanyi nti tugenda kufunamu ekirungi tetufa ku boogezi kubanga tulina obuvunaanyizibwa okutegekera omupiira. Abatuwakanya kye baliko tebakimanyi naye bali mu byabufuzi si nsonga za mupiira.

Tugenda kusigala nga twogera ne be kikwatako okulaba nga tutumbula omupiira kuba bammemba baffe tubamanyi era be basalawo ku buli kigenda mu maaso.

Okusala ku ttiimu kizimba omupiira?

Omulimu gwaffe kutumbula mupiira ku buli mutendera.

Twagala okuleeta ebipya ebiguzimba okuva ku gwa bakyakayiga okudda ku gwa pulofeseeno. Enkyukakyuka ez'omuggundu FUFA z'ekoze ze zigifudde empanguzi.

N'ekya liigi 12 kijja kukola kuba bingi bye tuleese ne babisimbira ekkuuli, gye bigweera nga batukooneddemu. Twaleeta Big League, liigi y'abakazi n'empaka endala era zonna ziri ku mutindo.

Abagamba nti okubeera ne ttiimu entono kyonoona omupiira babigga wa?

Buli nsi ebeera n'ebigendererwa ssaako ebisoomooza era kwe zisinziira okuteekateeka liigi. Mu Uganda tusobola okuteekateela liigi eyaffe okusinziira ku bigendererwa byaffe. Mu Bulaaya amawanga 29 ku 54 galina ttiimu 12 oba obutazituuka.

9 gali mu ttiimu 30 agasinga mu nsi yonna nga mulimu ne

Ukraine eri mu kyomunaana.

Okusala ku ttiimu tekikendeeze ku muwendo gw'abazannyi?

Nedda. Liigi zigenda kubeera bbiri; eya ttiimu etandika n'eya lizaavu. Buli liigi erimu ttiimu 12, nga buli emu egenda kubeerako abazannyi 35 abakkirizibwa okuzannya mu liigi zombi. Waliwo abazannyi abatafuna nnamba esooka, abakomawo mu buvune nga tebasobola kutandikira ku mipiira gya kaasammeeme, n'abato abaliikiriza ttiimu enkulu.

Abazannyi 35 okuva mu ttiimu 12 baakuwa omugatte gwa 420,

nga basingira wala 336 abaliwo kati mu ttiimu 16. FUFA etunuulidde muwendo gw'abazannyi 820 okuva mu liigi y'eggwanga ne Big League, nga bonna ba pulo.

Weebuuza ku kiraabu?

FUFA erina bammemba 34 n'abakiise 88 abatuula mu ttabamiruka ne balonda olukiiko olw'oku ntikko era lwe luddukanya omupiira ku lwabwe. Bwe tutuula mu ttabamiruka twewa tagyeti n'ebiruubirirwa ne tusaba abakozi ba FUFA (FUFA Secretariat) okuwaayo ebirowoozo ku nsonga ezimu. Zino bazitwala mu bukiiko obw'enjawulo ne baziteesaako oluvannyuma ne zituuka mu lukiiko lwa FUFA olw'oku ntikko okulaba ekiddako.

Bino byonna nga biwedde, tugenda kwebuuza ku buli gwe kikwatako okuli aba kiraabu za liigi, Big League, basiponsa, abatendesi, abazannyi nga

tuyita mu bakapiteeni baabwe, baddiifiri, bannamawulire mu kibiina kyabwe ekya USPA, NCS, n'abalala.

Lwaki wagaanyi abazannyi ba Cranes okwogera ku nsonga eno?

Tebalina buzibu kyokka abantu baabadde batandise okubayingiza mu byobufuzi nga baba-

buuza ebitali bituufu. Omulimu gw'abazannyi gwa kuzannya mupiira si kutegeka liigi. Twogedde n'abazannyi baffe kati buli omu amanyi ekigenda mu maaso.

Abazannyira mu liigi y'awaka tewali yaakyogeddeko kyokka be kikwatako obutereevu, naye bakimanyi nti tugenda kwogera nabo mu kiseera ekituufu.

Singa bakisimbira ekkuuli ogenda kukola otya?

Tulina obukugu obumatiza buli gwe kikwatako. Tukoze enkyukakyuka nnyingi ne zivaamu ebibala, ne bino tugenda kubikwata mu ngeri ya kikugu kubanga tulina obusobozi obuyita ku bantu abalwanyisa ebintu byaffe.

Lwaki muvudde ku byateesebwako mu 'Jinja Declaration'?

Ng'obukulembeze bwa Dr. Lawrence Mulindwa bukyaliwo, twawandiikira FIFA etuyambe okutereeza liigi yaffe. Byalina kukola mu sizoni ya 2010/2014 kati ate twogera ku bya 2022.

"Bingi bye tuleese ne babisimbira ekkuuli, gye biggweera nga batukooneddemu....."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...