TOP

Leero mazaalibwa ga Rocardo Kaka ag'emyaka 38

Added 22nd April 2020

Leero mazaalibwa ga Rocardo Kaka ag'emyaka 38

 Ricardo Kaka

Ricardo Kaka

Ricardo Izecson Dos Santos Leite ,'Kaka ' eyaliko emunyenye ya Brazil ,AC Milan ne Real Madrid mugye 2000 nga gitandika akonode emyaka 38 . 

Yazalibwa 22nd April 1982 e Gama ,Brazil mu famire engagga okwawukanako n'abasambi b'omupiira abasinga. 

Omupiira yagutandikira mu Academy ya Sao Paulo mu 1994.  Oluvanyuma yasumusibwa mu tiimu ya Sao Paulo enkulu mu 2001 n'agisambira paka 2003. 

Mu 2003 yegatta ku kirabu ya AC Milan mweyasinga okukolera erinya n'abawangulira ebikopo nadala ekya UEFA Champions League mu 2007 era n'awangula n'ekirabo kyo muzanyi eyakira bane ku semanzinga wa Bulaya ate mu kisera kye kimu nakonolwako eky'omuzanyi eyakira bane bonna munsi Yona (World Player of the Year 2007) 

Ekisinga okumujukirwako ,gwe mupiira ogw'oluzanya oludirira olwakamalirizo bweyagata abazibizi ba Manchester United babiri ;Gabriel Heinze ne Patrice Evra nabayitako mungeri yokubakuba akakanzu nateeba goolo amakula wade omupiira Manchester United yaguwangula 3-2. 

Azanyideko kirabu nga;  - Sao Paulo ( 2001-2003) - AC Milan (2003-2009) - Real Madrid (2009-2013) - AC Milan (2013-2014) - Orlando City (2014-17)  Omupiira yagunyuka mu 2017 mu kirabu ya Orlando City eya Amerika nga yo tiimu yegwanga eya Brazil yagikubira emipiira 92 nateeba goolo 29 (2002-2016) era yalimu nga bawangula ekikopo kye nsi yona mu 2002

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...