TOP

Okubeetingira ku mutimbagano kati kye kiriko

Added 12th May 2020

Mu kiseera kino ng’omuzannyo gw’omupiira guwummuddemu, okuzannyira ku mutimbagano (E-Sports) kwe kuli mu butaala.

Okubeetingira ku mutimbagano kati kye kiriko ku mutimbagano gwa SBA

Ensi ekubowa nti mu kiseera kino tewali mipiira gigenda mu maaso? Toli wekka. Okuyimiriza liigi ezisinga obunene mu nsi yonna kirese bangi nga bemagaza basubwa ttiimu zaabwe.  Tofaayo! SBA mu kiseera kino bawadde bakasitoma baabwe omukisa okuwagira tiimu ezisinga obunene mu bulaaya n'okubeetingira ku mutimbagano! (E-Sports betting)

Okubeetingira ku mutimbagano kye ki?

Nga tonnatandika kubeetingira ku mutimbagano, oteekeddwa okumanya kye ki! Okuzannya emizannyo gya kompyuta mu ngeri ey'okuvuganya kweyongedde mu biseera bino, nga kiraabu z'omupiira ez'amaanyi zigula abazannyi ne bazikiikirira ku mizannyo okugeza FIFA ne Pro Evo.

Mu kiseera kino ng'omuzannyo gw'omupiira guwummuddemu, okuzannyira ku mutimbagano (E-Sports) kwe kuli mu butaala. Nga bali wamu n'abazannyi abakugu aba E-Sports, abasambi b'omupiira babadde bazannya wakati waabwe ku kikopo kya FIFA 20. Okuzannya kwabwe kuteekebwa butereevu ku mutimbagano era kufunye abawagizi nkumu. Ekiseera eky'okuzannya kimpi nnyo (wakati w'eddakiika munaana n'ekkumi), ekitegeeza nti emizannyo gisobola okuzannyibwa buli kiseera era ebivaamu biba byangu.

Ani azannya?

Olwo tiimu ki eziraze nti ze zisinga okuba ennungi mu kiseera kino?  Wolves. Omuzannyi wa tiimu ku mutimbagano (E-Sports) yawangula ekikopo kya #UltimateQuaranTeam, enkola ey'okusirisizaawo omwali tiimu 128. Oluvannyuma lw'okulaba engeri gye gyaaali gifuuse egy'ettutumu, liigi  ya Bungereza eya English Premier League yasalawo okutongoza ekikopo ekyabwe, ekiyitibwa The #ePremierLeague Invitational. Kino kyalimu abazannyi bennyini nga Raheem Sterling, Wilfried Zaha ne Trent-Alexander Arnold, bonna nga bazannyira tiimu zaabwe mu FIFA 20. Omuzibizi wa Liverpool yatuuka ku luzannya olw'akamalirizo nga bazannya nga the Reds, ne bakubibwa Wolves' Diogo Jota. Kiringa ekiraga nti Omupootyugo alina talanta, nga Andre Gomes owa  Everton yakuba  Reece James owa Chelsea 8-0!

Liigi ya Bungereza eya Premier League bategese ebikopo ebiwerako, nga bakkiriza abazannyi abalala okwenyigiramu nebalaga obukugu bwabwe. Olwo ani anaggyako Jota engule?  

Engeri y'okukubamu akapapula (okubeetinga)

Okubeetingira ku mutimbagano (E-Sports betting) kufaanaganako n'okubeetinga okwa bulijjo ku mipiira.   SBA eteekawo liigi ez'enjawulo, nga mulimu obutale obw'enjawulo omuli  Over/Under 2.5 Goals ne Double Chance. Nga bwekiri ne tiimu z'omupiira zennyini, abasiba obupapula basobola okunoonyereza ku foomu y'abazannyi nga tebannaba kutunula ku byava mu muzannyo ogwakayita.

Kye kiseera onyige ku mutimbagano SBA website now, wosobola okuwagira ttiimu yo gyowagira!

Ebikwata ku SBA

SBA y'emu ku kampuni za Uganda ezikyasiinze mu by'okubeetinga. Wamu n'enzannya ez'enjawulo, bakuwa emizannyo egyenjawulo ku mutimbagano wamu ne viidiyo geemu okusobozesa bakasitoma baabwe okufuna kwebanaawangulira! Abazannyi basobola okukozesa enkola eya Cash Out okukuuma okuwangula kwabwe,  era buli wiiki bajja kufuna bakasitoma abawangula ne babateeka mu  Cash Drops mu akawunti zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...