TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Byekwaso w'emifumbi ateekateeka kugattibwa na Mugirimaani

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka kugattibwa na Mugirimaani

Added 25th May 2020

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu n’omwagalwa we Omugiriman Victoria Bechtold.

 BYEKWASO NE MUNINKINI WE

BYEKWASO NE MUNINKINI WE

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw'okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu n'omwagalwa we Omugiriman Victoria Bechtold.

Byekwaso agamba nti mu kiseera kino baatandise enteekateeka z'embaga era singa si kirwadde kya ssenyiga omukambwe, bingi ebyandibadde bituukiddwako wabula embaga yakubeerawo mwaka gujja bwe olwo bagattibwa mu bufumbo obutukuvu era nga yaakubeera mu Bugirimaani.

Okusinziira ku Byekwaso embaga bagisembezzaayo omwaka ogujja Ssenyiga omukwabwe w'asuubirirwa okuba ng'aweddewo okusobozesa mikwano gye emigi gy'alina okwetoloola ensi okubeerawo ku mbaga ye.

Byekwaso yagenda mu Bugirimani oluvannyuma lw'akuwangula empaka za Mr. Uganda enfunda eziwera n'eza Mr. Universe (INBA World Championship), 2016 mu kibuga Budapest ekya Hungary gy'amaze kati emyaka ena.

"Nkyalina ebiseera by'omumaaso mu muzannyo gw'emifumbi kuba ku myaka 37 mbeera nkyalinayo emyaka 15 emirala egy'okuzannya ng'abazannyi abalala bonna era singa si ssenyiga mbadde maze okwetegeka okuzannya mu mpaka za World Championship mu June naye tukyalina esuubi", bw'agamba.

Byekwaso mu kiseera kino akyabeera Bugirimaani era nga n'embaga gy'egenda okubeera wabula ng'agamba nti enteekateeka zonna bazikwasa Katonda okuzituukiriza kuba y'abayisizza mu muyaga okubakubye emirundi egy'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...