TOP

Admin FC eyagala Big League

Added 25th May 2020

Admin FC eyagala Big League

 Owor

Owor

ADMIN FC eweze okufiira ku Gadaffi esobole okwesogga Big League sizoni ejja. Zombi zizannyira mu Bukedi Eastern Region League nga zirina okusisinkana mu mupiira gw'okusunsulamu anaagenda ku fayinolo, eneesalawo ttiimu eyeesogga Big League.

Pulezidenti wa Admin FC, Eridad Henry Owor, yagambye nti abazannyi be basobola okujojobya ttiimu yonna, n'ajuliza bwe baawandula Police mu Uganda Cup. ''Tuli basanyufu n'ekyasaliddwaawo FUFA kuba teri amanyi kirwadde kya Corona we kinaggweera mu ggwanga.

Tuli beetegefu okutunuza Gaddafi ebikalu kuba guno omupiira gwe gusalawo sizoni yaffe,'' bwe yagambye.

Wiiki ewedde, FUFA yasazeewo okugaba ekikopo kya ‘Super', okusuumusa ttiimu za Big League ezaabadde zikulembedde ebibinja byazo, ssaako okusazaamu liigi ku mitendera emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...