TOP

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Added 25th May 2020

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

 Muky. Museveni

Muky. Museveni

AKAKIIKO akafuga emizannyo mu ggwanga (NCS) kafulumizza ebiragiro ebigenda okugobererwa emizannyo amangu ddala nga Pulezidenti aggyeewo omuggalo olwa Corona.

Ebiragiro bya NCS biddiridde minisita w'Ebyenjigiriza n'emizannyo, Janet Museveni okulambika engeri ebyenjigiriza n'emizannyo gye bigenda okukwatibwamu ng'omuggalo guweddeko.

Muky. Museveni yalagidde minisita w'Emizannyo, Hamson Obua okutuula ne NCS bakole enteekateeka (road map) ku ngeri emizannyo gye ginaddukanyizibwamu nga gizzeemu, abagirimu ne batakwatibwa Corona.

3Tewali muwagizi anakkirizibwa mu kisaawe okutuusa nga Gavumenti ekkirizza abantu okuddamu okukung'aana mu bifo eby'olukale.

4 Buli mulyango gwa kisaawe oba ekifo we batuukira okubaako akuuma akapima ebbugumu mu bantu, amazzi ne ssabbuuni oba sanitayiza kiyambeko abantu obutakwatibwa Corona.

5 Buli mukungu okutandikira ku b'ebyobulamu, bamaneja ba ttiimu, abafumbi b'emmere ku bisaawe n'abalala balina okwambala giraavu. 6NCS ng'eri wamu ne minsitule y'emizannyo baakufuyiranga ebisaawe eddagala eritangira Corona nga tebinazannyibwamu ne ng'emizannyo giwedde.

7Ebisaawe byonna birina okuba n'ekifo kya kasasiro ekifuuyirwa ng'emizannyo giwedde. 8Tewali bazannyi kugabana bikozesebwa nga amazzi, enkampa, obw'omu kamwa, emijoozi, engatto, sitookisi n'ebintu ebirala.

9Mu mizannyo egimu eginakkirizibwamu abawagizi abatono, teri anaayingira kisaawe nga talina masiki. 10Abakulira ebisaawe balina okussaako ttivvi okunaabanga obubaka obujjukiza abawagizi ku ngeri Corona gy'ayinza okutangirwa.

11Abakulira ebibiina by'emizannyo bettanire tekinologiya mu kukubiriza enkiiko zaabwe sso si kukung'aanya bammemba.

12Abakulira ebibiina by'emizannyo n'ebisaawe balina okuwandiisa nnamba z'essimu ya buli muntu kiyambeko okubalondoola singa wabaawo alina Corona. Ssaabawandiisi wa NCS, Dr. Patrick Ogwel yagambye nti ebiragiro bino bigenderedde kutangira bantu Corona kubanga eddagala lye terinnavumbulwa.

AKAKIIKO NCS yataddewo akakiiko ka bantu munaana (8) akagenda okulondoola okulaba nga buli kimu kissibwa mu nkola. Akakiiko kano kaakukulirwa Dr. George Galiwango (mmemba wa NCS), Dr. Diana Nakiddu (akulira ebyobulamu ku UOC), Cecilia Anyakoit (ow'ebyekikugu mu NCS), Beatrice Ayikoru (ssaabawandiisi w'ekibiina ky'emisinde), Moses Matsiko (pulezidenti wa golf), Nasser Sserunjogi (basketball), Ganzi Mugula akulira abazannyi ku UOC ne Joshua Cheptegei anaakiikirira abazannyi bonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...