TOP

Agatha Kayemba ne Amin Bbosa bavunaanibwe

Added 15th June 2020

OMUVUBUKA Musaki yakwatibwa ng’anuula kasooli mu musiri gwa muliraanwa waabwe. Mu kwekaza okw’ekitalo, yabuuza abaali bamuvunaana obubbi nti, “Okukungula ebirime bya kitaawo oba obbye?

Amin Bbosa

Amin Bbosa






Taata ne muliraanwa beeyita baaluganda munveeko ono kasooli mmutwala waffe." Abeekyalo kyabaggwaako kuba Musaki yamalirira n'atwala kasooli ewa muliraanwa nga bw'agamba nti, "Oluvannyuma lwa bavubuka bannange abawerako okwewera okubba kasooli ono mu kiro kya leero, mbeesoose ne mmunuula naye munsonyiwe okwetuminkiriza."

Ekyewuunyisa, muliraanwa ne bazadde ba Musaki tebaamubonereza okutandika obubbi ng'ayita mu kupalappalanya! Wiiki ewedde, FUFA yategese olukiiko n'abakungu ba kiraabu eziri mu liigi ya babinywera (Super) ku kitebe kyayo e Mengo wakati mu kuwera kw'abakulira ttiimu zino nti tebajja kulwetabamu kuba lwagudde nga nkuba ne bataweebwa budde bufumintiriza ku nsonga ezaabadde ez'okuteesebwako.

Olukiiko terwajjumbiddwa kuba kiraabu 7 zokka ku 16 ze zaalwetabyemu. Kyokka ku musanvu ogwazze, Amin Bbosa ne Agatha Kayemba beeyogeddeko ng'abaakiikiridde Busoga United ng'eno ya Dianah Nyago, omu ku baakulidde okuwakanya olukiiko lwa FUFA.

Oluvannyuma lwa kiraabu endala okwemulugunya nti Bbosa ne Kayemba tebalina kakwate ku Busoga United, beekazizza nti bo baatumiddwa Kyabazinga (omukulembeze w'ennono n'obuwangwa mu Busoga) kuba kiraabu ya Busoga United egatta Obwakyabazinga bwonna.

Okufaananako Musaki eyanuula Kasooli wa muliraanwa nga tamukkirizza, Bbosa ne Agatha nabo okuva mu Busoga tekibawa kisaanyizo kya kuteeseza Busoga United nga nnyiniyo (Nyago) tamanyi.

Weewuunya FUFA nayo okwaniriza abantu abapalappanya, abeeyita kye batali! Ekimu ku bisse eggwanga lyaffe be bantu abateekeddwa okukwasisa amateeka okubikkirira abakyamu olw'ensonga zaabwe ez'obuntu.

Tewandisuubidde Ying. Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA, ate nga mmemba mugundiivu mu CAF era ffanfe wa pulezidenti wa FIFA, Infatino, okusanyukira Bbosa ne Agatha nga balapalappalanya ne beefuula abakungu ba Busoga United.

Obukuluppya obw'ekika kino bukulowoozesa nti osanga eby'emisango gy'okukumpanya tikiti za World Cup ya 2014 e Brazil, egyavunaanibwa Magogo gyali mituufu nga mu FIFA eyagiwulira namwo mulimu abazibira abapalappalanyi! kkawuma@newvision.co.ug 0772371990

OMUVUBUKA Musaki
yakwatibwa ng'anuula
kasooli mu musiri gwa
muliraanwa waabwe.
Mu kwekaza okw'ekitalo, yabuuza
abaali bamuvunaana obubbi nti,
"Okukungula ebirime bya kitaawo
oba obbye? Taata ne muliraanwa
beeyita baaluganda munveeko ono
kasooli mmutwala waffe."
Abeekyalo kyabaggwaako kuba
Musaki yamalirira n'atwala kasooli
ewa muliraanwa nga bw'agamba
nti, "Oluvannyuma lwa bavubuka
bannange abawerako okwewera
okubba kasooli ono mu kiro kya
leero, mbeesoose ne mmunuula
naye munsonyiwe okwetuminkiriza."
Ekyewuunyisa, muliraanwa ne
bazadde ba Musaki tebaamubonereza
okutandika obubbi ng'ayita
mu kupalappalanya!
Wiiki ewedde, FUFA yategese
olukiiko
n'abakungu ba
kiraabu eziri mu
liigi ya babinywera
(Super) ku kitebe
kyayo e Mengo
wakati mu kuwera
kw'abakulira ttiimu
zino nti tebajja
kulwetabamu kuba
lwagudde nga nkuba
ne bataweebwa
budde bufumintiriza
ku nsonga
ezaabadde ez'okuteesebwako.
Olukiiko terwajjumbiddwa
kuba kiraabu 7 zokka ku 16 ze
zaalwetabyemu. Kyokka ku musanvu
ogwazze, Amin Bbosa ne
Agatha Kayemba beeyogeddeko
ng'abaakiikiridde Busoga United
ng'eno ya Dianah Nyago, omu ku
baakulidde okuwakanya olukiiko
lwa FUFA.
Oluvannyuma lwa
kiraabu endala okwemulugunya
nti Bbosa
ne Kayemba tebalina
kakwate ku Busoga
United, beekazizza nti
bo baatumiddwa Kyabazinga
(omukulembeze
w'ennono n'obuwangwa
mu Busoga) kuba kiraabu
ya Busoga United
egatta Obwakyabazinga
bwonna.
Okufaananako Musaki eyanuula
Kasooli wa muliraanwa nga tamukkirizza,
Bbosa ne Agatha nabo
okuva mu Busoga tekibawa kisaanyizo
kya kuteeseza Busoga United
nga nnyiniyo (Nyago) tamanyi.
Weewuunya FUFA nayo okwaniriza
abantu abapalappanya, abeeyita
kye batali!
Ekimu ku bisse eggwanga lyaffe
be bantu abateekeddwa okukwasisa
amateeka okubikkirira
abakyamu olw'ensonga zaabwe
ez'obuntu. Tewandisuubidde Ying.
Moses Magogo, pulezidenti wa
FUFA, ate nga mmemba mugundiivu
mu CAF era ffanfe wa pulezidenti
wa FIFA, Infatino, okusanyukira
Bbosa ne Agatha nga balapalappalanya
ne beefuula abakungu ba
Busoga United.
Obukuluppya obw'ekika kino
bukulowoozesa nti osanga
eby'emisango gy'okukumpanya
tikiti za World Cup ya 2014 e Brazil,
egyavunaanibwa Magogo gyali
mituufu nga mu FIFA eyagiwulira
namwo mulimu abazibira abapalappalanyi!
kkawuma@newvision.co.ug
0772371990

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu