
Ssennyondo ng'akutte ekifaananyi ekyamukubwa nga Kabaka amukwata mu ngalo.
OMUPIIRA nnaguzannyako mu gy'e 70 okuviira ddala mu pulayimale e Bukulula ne Biikira SS, era ngweyitira muzzahhanda. Ngwenyumirizaamu nnyo kubanga gwe gwannyamba okuyingira Kampala nga nva e Masaka.
Nga mmalirizza S4, mukulu wange, omugenzi Fred Kizza, eyali akulira poliisi ku mulembe gwa Obote, yasalawo okuntwala e Kampala nkole nga bwe nzannya.
Nagutandikira mu ttiimu ya Co-operatives ng'entendekerwa ku Old Kampala SS. Okuva bwe nalina kkono 'alebera', namalayo akaseera katono UCB n'entwala.
Eno nayo ssaabandaalayo ne nneegatta ku Coffee SC. Eno nafuna omukisa okuzannya nga bwe nkolera ekitongole kye kimu, nga tuli ne Sam Timbe eyali ggoolokipa.
Nasookera mu kitongole kya kukuuma biwandiiko bakama bange ne bankuza okutuuka lwe bansaba obudde obusinga mbusse ku mirimu. Olw'okuba omupiira nali nkyagwagala, nasalawo okuguwagiza amaanyi gange gonna.
Ttiimu ze mpagidde kuliko; Co-operatives, Coffee ne Villa. Kyalinga kizibu okusubwa omupiira kubanga abaagusambako twagulabiranga bwereere. Okwambala obulungi kyannyanguyiza obulamu ne kimpa ettutumu lye ssaafuna nga nsamba.
Natuulanga n'abakungu mu paviriyoni kubanga teri muserikale yali asobola kunnyimiriza nga ndabika ng'owoobuvunaanyizibwa, era kyampa omukisa okumanya ebikonge mu Gavumenti ne mu mupiira okugeza abaaliko abakulembeze ba FUFA; Denis Obua, John Ssemanobe, Dr. Lawrence Mulindwa, omugenzi John Ssebaana Kizito, ssaako Ying. Moses Magogo aliko mu kiseera kino.
BYE NFUNYE MU MUPIIRA EMBAGA
Siyinza kwerabira mwaka gwa 1978 aba Coffee mwe bankolera embaga makeke nga mpasa kabiite wange Dorothy Ssennyondo! Ebiseera ebyo byali bizibu nnyo olw'entalo ezaaliwo, naye abakulu okuva mu Coffee banfunira paatulo z'amagye ezamperekera n'abagenyi bange okuviira ddala mu Lutikko.
Tuzadde abaana 10, naye mwenda be balamu.
OKUVUGA BBAASI YA CRANES
Olw'okuba nali muwagizi lukulwe, kyabanga kizibu amawulire gonna okuva mu FUFA okumpitako. Baali bankazaako lya 'Obua' olw'okubeera ennyo ku lusegere lw'omugenzi Denis Obua.
Muno mwe nategeerera nga bwe baali banoonya ddereeva wa bbaasi ya Cranes, ne mbagamba nga bwe nalina ppamiti ensobozesa okukola omulimu ogwo era baagumpa.
OKUSIIMIBWA KABAKA
Kabaka aba agenda mu Lubiri lwe e Nkoni mu 2018, yasanga abantu bangi bamulinze e Lukaya, n'avaamu ababuuzeeko. Nali omu ku batono be yakwata mu ngalo naye ekyasinga okunsanyusa, baba bannyajula n'abagamba nti, "Ono Ssennyondo mmumanyi wa mupiira nnyo ate era Meeya." N'omukumi we namulaba nga yeewuunyizza!
OKWOGERERA ABAWAGIZI BA VILLA
Ekyasinga okunsanyusa ku bukulembeze buno y'engeri bakama bange bonna gye bampangamu ekitiibwa. Bampitanga 'Mr. Speaker Sir' ne nfa essanyu era nga buli kye nteesa bakiwuliriza.
OKULINNYA ENNYONYI
Nninnye ennyonyi okugenda okuwagira Cranes. Olumu omubaka Muhammad Nsereko (Kampala Central), yatusasulira ne tugenda e South Afrika, era sirirwerabira.
EMIKWANO
Mbadde ku lusegere lw'abakungu b'omupira era ne tuggyamu omukwano. Mulimu; Dr. Mulindwa, era olw'omukwano ogwo bwe namutwalira omugenzi Jimmy Kirunda yakkiriza okumuwa omulimu. Yali akkirizza n'okutugulira abaagusambako ettaka kyokka obutakwatagana ne kukiremesa.
EBYOBUFUZI
Obuwagizi bwampa ettutumu n'okwagalwa mu bantu okuviira ddala ewaffe e Lukaya. Olw'okuba nali nkolaganyeeko n'abantu ab'enjawulo ate nga nneeyisa mu ngeri ya buvunaanyizibwa, abantu b'e Lukaya bannonda ku Bwammeeya bwe nneesimbawo mu 2011 omulundi ogwasooka, ne bannyongera n'ekisanja ekirala mu 2016.
Ebbanga ettono lye namala nga nsamba omupiira lyanfuula omwesimbu mu buli kye nkola nga nakiggya ku batendesi abaayitanga ensobi ensobi, n'ekirungu ekirungi. Abantu bankazaako erya 'Kikyamu' olw'okubeera nnaamwatulira kubanga ekintu nkyogera nga bwe nkirabye.
EKYANZIGYA KU KUWAGIRA
Edda okuwagira omupiira kwalimu ebbugumu lya maanyi nga n'abawagizi bagutwala okuba entabaluganda. Omuwagzi yenna bwe yafunanga obuzibu nga banne bonna basitukiramu, ekitakyaliwo.
Effujjo mu bawagizi eryasinga okuva mu bannannyini ttiimu olw'okwagala ennyo ssente ne batuuka n'okukissa mu bawagizi nti omupiira gwa kufa na kuwona, oteekwa okuwangula.
Abawagizi baatandika okulwanagana, sso nga luli baali bakolagana bulungi. Ebikolwa ebyo bye byasinga okuntamya okuwagira omupiira nga ntya okufiira mu kavuyo ate nga nnina obuvunaanyizibwa eri famire yange ne be nkulembera.
EBISSE OMUPIIRA
lWaliwo obunafu mu nzirukanya y'omupiira obusaana okutunulwamu bwe guba gwakuddayo ku ttutumu lye gwaliko. Luli ng'abakulembeze bafaayo, ekikyataliwo. Abaagusambako basaanye beenyigire mu kugukulembera kubanga bamanyi bulungi gye guvudde.
lOkweyagaliza n'okwagala ssente kususse. Abakulembera omupiira baagufuula mulimu mwe baggya ssente. Pulezidenti Museveni asaanye akole ebikwekweto mu bitongole by'omupiira nga bw'azze akola mu bya Gavumenti kubanga ensimbi nnyingi zitwalibwa abantu ssekinnoomu.