TOP

Abaali bassita boogedde lwaki Arsenal evuya

Added 23rd June 2020

WAKATI mu kulwana emalire mu bifo eby'oku mwanjo eddeyo mu mpaka za Bulaaya, Arsenal yaakakubwa emipiira ebiri egiddiring’ana.

Arteta ng'atunuulidde abazannyi ba Arsenal; Sokratis (ku kkono), Torreira ne Aubameyang.

Arteta ng'atunuulidde abazannyi ba Arsenal; Sokratis (ku kkono), Torreira ne Aubameyang.





Man City yagikubye (3-0) wamu ne Brighton (2-1). Kino kyagirese mu kifo kya 10 nga ManU eri mu kyokutaano (ekigenda mu Europa) egisinga obubonero 6.

Abawagizi ba Arsenal bali mu kutya nti emipiira omunaana gye uzaayo bwe batagifunamu bubonero bwegasa, empaka za Bulaaya eza sizoni ejja baakuzirabira ku ttivvi nga balaba kirimaanyi bannaabwe.

Ezimu ku ttiimu ze babuzaayo kuliko; Spurs, Wolves, Southampton, Leicester ne Liverpool n'endala. Abaaliko bassita ba Premier boogedde ku kivuddeko omutindo gwa Arsenal ogw'ekibogwe;

JAMIER CARRAGHER (Liverpool)

Embeera eri mu Arsenal tenneewuunyisa ate sisuubira kulabawo njawulo. Abalowooza nti yakubiddwa lwakuba ekisaawe temwabadde bawagizi si kituufu kuba emyaka gigenda mu 10 nga w'obasuubirira okwaka bazikira buzikizi.

GARY NEVILLE (ManU)

Oyo Arteta mmuwa amagezi ga kuyiwa kisenge kyonna kuba akyakubwa nnyo. Enzannya ya Arsenal ekyuse nnyo n'ekisenge olaba nga kiyimirira bulungi naye abazannyi abakirimu babi nnyo. Yeetaaga abazibizi abakkakkamu.

RAY PARLOUR (Arsenal)

Arteta anneewuunyisa buli kiseera okuwolereza abazannyi abamukubya. Simanyi oba alinze kumugoba alabe ekituufu! Tewakyali nsonga lwaki osigala weesiga abazannyi nga David Luiz mu kisenge kyo. Nze nga bwe ndaba, Arsenal evuga edda mabega.

ROY KEANE (ManU)

Sikyasobola kwesunga mupiira gwa Arsenal gwonna. Ku mulembe gwaffe nga gunsuza sseebase wabula kati ttiimu ejjudde bakaceere, abatalina mbavu zigirwanirira ndabamu ki! Nga nze nneesunga ttiimu efaanana bw'etyo!

ALAN SHEARER (Newcastle)

Obuzibu businga kuva ku bagagga ba Arsenal. Arteta mwagala azannyise bazannyi ki be mutamuwadde? Singa temukwata ssente kuzissa mu ttiimu, mukkirize efuuke kimpenkyekubire.

MARTIN KEOWN

(Arsenal) Ekinneewuunyisa, ye ttiimu yaffe okufuuka 'Aubameyang FC' kuba bw'atayaka, bateebi banne ne bassita abalala tebafaayo kusitula ttiimu.

ARTETA AYOGEDDE

Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta akkirizza nti omulimu gw'okuzza Arsenal ku maapu gukyali munene nnyo.

"Okulinnyisa emitima gy'abazannyi lutalo lunene. Tukubiddwa emipiira ebiri nga kati nnina kulwana kubamatiza bagyerabire," Arteta, eyasikira Unai Emery bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti obuzibu we businga be bassita be abasinga obutamuwa kya maanyi ku kisaawe. "Tetuyinza kwekwasa buvune bwa Bernd Leno kuba twabadde n'emikisa egiwangula mingi," Arteta bwe yayongeddeko.

Ku Lwokuna, Arsenal ekyalira Southampton mu Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...