
Ssenninde
Sseninde 27, abadde amaze omwaka mulamba nga yagaana okuzza endagaano obuggya ne QPR olw'ensonga nti yali ayagala kuwummula kuzannya mupiira olw'obuvune bwe yali afuunye ng'ayagala kuwummula yeenyigire mu kuzuula n'okukulaakulanya ebitone.
Wabula ku Lwokusatu June 24,2020, okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ttiimu ya Wakefield Trinity Ladies kyakakasizza nga bw'atadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ng'abasambira omupiira.
"Kubadde kusalawo kwange okukyusa ttiimu era ndi musanyufu nnyo okuddamu okuzannya omupiira sizoni ejja ate nga nzannyira mu ttiimu gyemaze ebbanga nga njeegomba olw'ebigendererwa ebitali bimu nzikiriza tugenda kukwatagana bulungi," Sseninde bwe yakakasizza.
Y'agasseeko ng'okubiriza abawala abato abalina ebirooto by'omupiira ate n'abo abagusamba kati obutekkiriranya n'ebyo ebibaggya ku birooto byabwe, balwane okutuuka nga bawangudde.