TOP

Eyali ssita wa KCC ne Cranes mulwadde ensigo: Ali bubi

Added 30th June 2020

BULI lw’okoona ku linnya lya Ibrahim Sekaggya, Abubaker Tabula, Wilber Musika n’abalala, Willy Kyambadde ayunguka amaziga.

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.






Agamba nti kimukwasa ennaku mikwano gye enfiirabulago okubeera mu mbeera ennungi nga ye ennaku agiyonka butaaba sso nga bangi yali abasinga n'ekitone ky'omupiira.

Yazannyirako Express, KCC FC ne Cranes ng'alina ekitone kisuffu era Bannayuganda bangi baamulinamu essuubi.

Mu kaseera kano, Kyambadde ali mu maska ge e Jinja Kalooli Zooni mu Kawempe mulwadde nnyo nga takyasobola kutambula bulungi olw'omusaayi omutono mu mubiri. Talina busobozi bwetuusaako ebyetaago eby'omu bulamu era agamba talina nsimbi zigenda mu ddwaaliro okumujjanjaba ensigo.

"MU butuufu nazannya omupiira nga buli we mpita banuuka ensingo okundaba. Nnalina essuubi nti nja kubeera wa byafaayo nnyo mu mupiira gwa Uganda wabula embeera yange nange enkaabya," Kyambadde bwe yategeezezza Bukedde ng'ayunguka amaziga.

Agamba nti bw'ajjukira ebiseera we yazannyira ne Sekaggya, Musika, Lawrence Musoke n'abalala, amaziga gamuyitamu nti kuba naye kasi singa alinga bo. Yategeezezza nti gugenda mu mwaka mulamba nga atawaanyizibwa ekirwadde ky'ensigo nti wadde yagendako e Mulago, bikyagaanyi.

Yasabye abazirakisa okumudduukirira agende mu ddwaaliro afune ku bujjanjabi obw'enjawulo kuba obulamu bumukaluubiridde nga takyesobola ng'ate alina famire ya baana bataano.

MUKYALA WE AYOGEDDE

Hawa Nakku, mukyala wa Kyambadde, yategeezezza nti asobeddwa eka ne mu kibira kuba taata w'abaana be obulwadde bumulemeddeko, nga yeetaaga abantu okumumuyambako kuba naye akoze buli ky'asobola naye bikyagaanyi.

"Nkoze omulimu gwange nga omukyala era nkyagukola naye nneetaaga abantu okunkwasizaako," Nakku bwe yasabye abalina obusobozi okumuyamba.

KYAMBADDE Y'ANI?

Yasomerako e Naggalama Islamic, gye yatandikira okuzannya omupiira, ne Arua Young (Arua).

Mu 1996, yeegatta ku Express ng'ava mu Arua ate mu 2000 n'agenda mu KCC FC.

Mu 2002 yaddayo mu Express ate oluvannyuma n'agenda e Vietnam n'amalayo emyaka ena kyokka nga yaliko ne mu Jomo Cosmos eya South Afrika ebintu ne bitatambula bulungi n'avaayo.

Ng'akomyewo mu Uganda, yeegatta ku Proline n'agizannyira sizoni emu, oluvannyuma n'agenda mu Bright Stars n'agiyamba okwegatta ku liigi ya babinywera.

Oluvannyuma omupiira yagunnyuka n'afuuka omu ku batendesi ba Bright Stars ne John Kayanja, okumala sizoni emu.

Kyambadde n'abaaliko abazannyi abali mu mbeera embi bayambibwe batya? Teesa ng'oyita ku mukutu gwa Bukedde ogwa Facebook.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...