TOP

Musaayimuto wa SLAU yeesunga 'Super'

Added 30th June 2020

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) mu Pepsi University League, Ibrahim Kasule amanyiddwa nga ‘Owen Baba Kasule’ essanyu katono limutte ng’ategeezeddwa nga bwe yeegasse ku Wakiso Giants eya ‘Super’.

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.





Kasule 21, ali mu mwaka ogwokubiri ng'akola diguli mu Industrial Arts and Design, yaweereddwa endagaano ya myaka esatu.

Kasule agamba nti okufuna essimu okuva ew'omugagga wa ttiimu, Musa Ssebulime amanyiddwa nga ‘Musa Atagenda', yabadde takikkiriza kuba okuzannyirako mu ‘Super' kye kimu ku birooto bye.

"Ng'enda kuggyayo amaanyi gange gonna okulaba nga nsitula kiraabu eno ekole bulungi sizoni ejja," Kasule bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde Wakiso yamalidde mu kifo kya 10 n'obubonero 30 mu mipiira 25.

Kasule azannyiddeko All stars FC, Mbikko United, Athletical Club e Ntinda, Nansana United, Kampala Junior Club (KJT), ssaako ez'Amasaza okuli; Buvuma, Butambala, Kyaddondo ne Buddu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...