TOP

Omutendesi Bamweyana olwegasse ku Wakiso Giants FC n'awera

Added 1st July 2020

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira gw’akawoowo ate oguwangula mu kiseera ky’anaamala ngali mu mitambo gya ttiimu eno.

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Ono gwetwasanze ku ofiisi za ttiimu e Najjanankumbi bwe yabadde ayanjulwa mu butongole ku ndagaano ya myaka esatu ng'adda mu bigere bya Deo Sserwadda eyakwatiddwa ku nkoona mu kiseera nga yaakayamba Wakiso Giants FC okusigala mu liigi ya babinywera.

Bamweyana waakumyukibwa omutendesi Richard Wasswa eyagobwa mu Vipers SC sizoni ewedde, Steven Bengo ye mumyuka owookubiri ne Ali Kiggundu owa baggoolo kippa.

"Wakiso Giants erina abazannyi balungi wabula kenzizze bagenda kuyitirira kuba njagala nnyo omupiira ogw'akawoowo, ogunyuma ate nga guwangula. Nga nnyambibwako obumanyirivu bwa bannange bano, tugenda kulwana okulaba nga ttiimu eno efuuka ensonga wano mu ggwanga," Bamweyana bwe yategeezezza.

Agattako nti omutindo gwe bagenda okuteekako Wakiso Giants ssi gwa kuyamba ttiimu yokka wabula na buli musambi ssekinnoomu kuba bagenda kubongeramu obukodyo kwe banaatambuliza omupiira obulamu bwonna era ebikopo babyesunga.

Ono ye mutendesi kati owookutaano mu bbanga lya mwaka gumu okutendeka Wakiso Giants FC oluvannyuma lwa Ibrahim Kirya, Kefa Kisala, Livingstone Mbabazzi ne Deo Sserwadda ababadde okusooka.

Bamweyana abadde yaakagobwa Moroons FC sizoni ewedde naye ng'atendeseeko ttiimu nga; Express FC, SC Villa ne Makerere University mu Pepsi University League.

Sizoni ewedde Giants baamalira mu kifo kya kkumi n'obubonero 30 mu mipiira 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...