TOP

Aba ttiimu y'essaza lya Gomba bali mu kutya

Added 1st July 2020

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu okutya n’okwekengera nti ssinga abawagizi bagaanibwa mu bisaawe ng’emipiira gitandise bandisanga akaseera akazibu.

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Nga newankubadde ebyemizannyo bigenda biddamu mpola mpola okwetoloola ensi yonna, abawagizi babadde tebannakkirizibwa kuyingira bifo awazannyirwa emizannyo egy'enjawulo era nga kisuubirwa okuba bwe kityo ne wano mu ggwanga olw'okuziyiza okusaasaana kw'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe ekireetebwa Corona Virus.

Gomba ly'Essaza elyakasinga okugula abasambi abangi mu kaweefube w'okwetegekera sizoni empya eya Airtel Masaza Cup 2020 nga baakasonjola abazannyi 20 okuli;

Martin Ssenkooto(MUBS), Sula Mpanga, Emmanuel Derrick Were(UCU), Henry Bishop Orom, Nasser Lukwago(UMU), Ponsiano Sseggonja, Ben Nambokoho, Abdallah Ssentongo, Joseph Bright Vuni, Amuli Mukasa, Hussein Grace Ssenoga, Ibrahim Kasinde, Bashir Lubinga, Sharif Nsereko, Richard Basangwa, Isaac Ogwanga, Nasif Kabuye ne Raymond Walugembe.

Ssentebe w'Essaza lya Gomba Mansoor Kabugo agamba nti omutima gw'emipiira gy'Amasaza be bawagizi,okugaddukanya obulungi geetaaga ssente mpitirivu era buli abawagizi bwe babaamu ebbugumu lyeyongera kw'ossa n'essente ezisoloozebwa ku mulyango.

"Obutabaamu bw'abawagizi mu bisaawe bwandiremesa emipiira gy'amasaza newankubadde agasinga gabadde gataddemu ssente nnyingi, wabula ekibuuzo kiri nti corona agenda kuggwaawo ddi?,"Kabugo bwe yategeezezza.

Wabula agattako nti bbo ng'Essaza beetegefu okwetabamu ssinga akakiiko akaddukanya Amasaza kalangirira ddi wegatandika.

Gomba be baakasinga okuwangula ekikopo ky'Amasaza emirundi emingi (2004, 2009, 2014 ne 2017)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...