TOP

Nakaayi yeebugira mpaka z'e Morocco

Added 11th July 2020

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga Monaco ekya Bufalansa asobole okugezesa emikisa gy’okuwangula ddoola 10000(Ush:40m).

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo





Kino kiddiridde ekibiina ekitegesi ky'emisinde gino okufulumya olukalala lw'abagenda okwetabamu nga n'erya Nakaayi kweriri ekimuwadde essanyu okulaba nga mu ba kyampiyoni b'ensi yonna mu muzannyo gw'emisinde naye alowoozeddwaako.

Ssinga embeera y'ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ekireetebwa akawuka ka Corona-Virus teyongera kusajjuka, emisinde gino gyakubaawo omwezi ogujja nga August 14, era omuwanguzi waakusitukira mu ddoola 10000.

"Kino kye kibadde ekimu ku birooto byange okwetabako mu misinde gino egya bakyampiyoni b'ensi yonna mu mitendera egy'enjawulo era nsaba Katonda atereeze embeera y'ekirwadde kya Covid-19, nsobole okuwangula ku ssente zino," Nakaayi bwe yategeezezza.

Uganda yaakukiikirirwa abaddusi babiri okuli Nakaayi mu mitta 800 ne Joshua Cheptegei mu kiromita 5.

Nakaayi akwata kifo kyakusatu mu mbiro eza mita 800 mu nsi yonna, kino yakituukako omwaka oguwedde bwe yaddukira essaawa 1:58:04 mu misinde gy'ensi yonna egya IAAF Athletic world Championship mu kibuga Doha n'asitukira mu muddaali gwa zzaabu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...