TOP

Police FC eyongedde okwenyweza

Added 11th July 2020

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde abadde omuzannyi wa Onduparaka Muhamood Hassan ku ndagaano ya myaka ebiri.






Oluvannyuma lw'emyaka  15 nga Police FC tewangula kikopo kyonna, AIGP Asan Kasingye ssentebe wa ttiimu agamba nti sizoni eno atandise ekikwekwe ‘Police FC ku ntikko' era agenda kuwa ssente omutendesi Abdullah Mubiru wamu n'akulira emirimu Fahad Lumu baffeffette buli muzannyi omulungi agenda okuzza ttiimu engulu.

"Mohamood tumuleese okunyweza ekisenge,tukooye ttiimu yaffe okufuuka ekisekererwa, era tugenda kukola buli ekisoboka sizoni eno okumalira mu bifo ebyokumwanjo," Kasingye bwe yategeezezza

Ono kati ye muzannyi owookusatu okwegatta ku Police FC oluvannyuma lw'omuwuwuttanyi Tonny Mawejje gwe baaleeta ku Mmande nga July 6,2020.

Police FC yakoma okuwangula liigi mu 2005 n'ekya CECAFA Kagame cup mu 2006, sizoni ewedde baamalira mu kifo kya 13 n'obubonero 25 mu mipiira 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...