TOP

Kajoba azzeemu okukwatagana ne Kiwanuka mu ttiimu emu

Added 12th July 2020

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono kati yeegasse ku Ibrahim Mugisha owa ba ggoolokippa ne Edward Ssali owa dduyiro.





Kajoba agamba nti abadde ne Kiwanuka ebbanga ddene nga bakola emirimu egy'enjawulo era nga bakwatagana bulungi ky'asuubira nti okujja mu Vipers SC kigenda kumwanguyiza emirimu nti ssinga abeera agenze ku mirimu gya ttiimu y'eggwanga (Uganda Cranes) abeera asobola okuddukanya buli kimu.

"Kiwanuka mwesiga okusinga n'abatendesi abalala, mmanyi obunafu n'amaanyige we biri, ate sikugamba nti lw'akuba tumaze ebbanga ddene nga tukola ffembi y'ensonga emuleesezza naye alina obumanyirivu, obwongo n'obukugu, ebisobola okukuumira Vipers SC ku ntikko,"Kajoba bwe yategeezezza.

Kajoba mumativu nti mumyezi mukaaga gye yaakamala ku Vipers SC, alina ekifaanayi ekituufu butya ttiimu eno gy'esobola okufuuka ensonga wano mu Uganda ne kulukalu lw'Afrika.

"Ndi mumativu n'enkyukakyuka ezaakakolebwa nga tweteekerateekera sizoni ejja, abazannyi okuli;Jamil Kaliisa(Bright Stars), Ibrahim Orit(Mbarara City), Yunus Ssentamu(AS Vita Club) ne Dissan Galiwango bajja kutukolera era tugenda kwongerako abalala nga babiri bokka n'okukuza abamu ababadde mu ttiimu ento," Kajoba bwe yayongeddeko.

Kiwanuka ne Kajoba babadde bonna ku ttiimu ya Brightstars okuva sizoni ya 2015/16 okutuusa sizoni ewedde Kajoba bw'ayabulidde ttiimu eyo. Kati ate badding'anye okutandika olubimbi olulala mu ttiimu endala.

Vipers be balina ekikopo kya sizoni eno kyebawangulidde ku bubonero 54 mu mipiira 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...