TOP

Ebiragiro by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu

Added 12th July 2020

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera kubisimbira kkuuli.





N'abakungu ba ttiimu z'amasaza bagumu nti bakwetaba mu mpaka z'omwaka guno ez'amasaza wadde ng'ebiragiro ebyabaweereddwa akakiiko akadduaknya empaka z'amasaza ku ky'okwetangira ekirwadde kya COVID-19 bigenda kubakosa mu by'ensimbi. 

Bano  okwetemamu kiddiridde ssentebe w'akakiiko k'amasaza Sulaiman Ssejjengo okuvaayo ku Lwokutaano emisana n'asaba abaddukanya ttiimu z'amasaza okulaga engeri gye zeteseteese okuzannya empaka z'omulundi guno wakati mu kugoberera ebintu ebigenderedwamu okwetangira ekirwadde kya COVID-19 bino wammanga ; 

1.Ebifo abazannyi mwe banaakumirwa nga temutuukamu bantu. 

2.Ebisaawe ttiimu zabwe mwe zinazannyirwa nga tebikirizibwaamu bantu omuli abawagizi n'abategekeramu emikolo okutuusa empaka lwe zinaggwa. 

3.Entambuza  babazannyi etebateeke mu bulabe nga bagenda okuzannya emipiira gino.  4.Eddwaaliro eri ku mutendera gwa Health Center iV n'okusingawo. 

5.Ttiimu y'abasawo abagenda okukebera n'okulondoola abazannyi n'abanabeera ku ttiimu .  6.Okulaga entegeka y'ebyokwerinda egenderedwaamu okuziyiza abawagizi okuyingira mu nkambi y'abazannyi .  7.Okuteekawo ebikozesebwa ebinamala abazannyi okweewala embeera y'okubigana ku  tiimu. 

Era ebiragiro bino bye bitemyemu abakungu bano (abaddukanya ttiimu z'amasaza)  abakulembedwa ssentebe wa Buweekula  Edward Mawanda eyawakanyiza eky'okukugira abawagizi okuyingira mu bisaawe ng'agamba nti kigenda kukosa ebyenfuna byabwe kubanga ssente ezisoba mu bitundu 95 ze bayingiza mu ttiimu zabwe ziva mu bawagizi.

Era n'awabula ab'akakiiko okusooka okutuula nabo banoonye engeri entuufu gye bayinza okuzannyamu empaka zino ng'abawagizi mwe bali mu bisaawe. 

Wabula abawagira ebiragiro by'akakiiko okwabadde omuwandiisi w'esaza lya Bulemeezi Andrew Walakira ne ssentebe wa ttiimu ya Gomba Mansoor Kabugo bategeezeza nti wadde nga bamaze dda okukola loosi (wakati mu kwetegekera empaka z'omulundi guno) nti kyokka  beetegefu okugondera ebiragiro bino ku lw'obulungi  bw'okusobozesa empaka zino okubeerayo n'okuwa abazannyi babwe omukisa okuzeetabamu . 

"Tuli mabega w'ebyasalidwaawo akakiiko kubanga tetumanyi ddi ekirwadde kino lwe kinagwaawo ,bwatyo Walakira bwe yategeezeza.  Empaka z'omulundi guno zisuubirwa okuzanyibwa mangu ddala nga gavumenti ezzemu okukiriza eby'emizannyo okuzanyibwa era ng'ezomwaka oguwedde zawanguddwa Bulemeezi eyakubye Busiro ggoolo 1-0 ku fayinolo e Namboole .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...