TOP

Empaka za FEASSSA zisaziddwaamu

Added 14th July 2020

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika (FEASSSA) omwaka guno guzzeemu omukoosi, emizannyo gino bwe gisaziddwaamu olw’embeera y’ekirwadde kya ssennyiga omukambwe.







Emizannyo gino omuli; omupiira, okubaka, okuwuga, emisinde, pool, Volleyball, Basketball, woodball n'emirala, gyetabwamu amasomero ga ssiniya okuva wano e Uganda, Kenya,Tanzania, S.Sudan, Burundi ne Rwanda, gibadde gyakuzannyibwa omwezi ogujja mu kibuga Kakamega ekya Kenya.

Uganda be bakyampiyoni b'ekikopo ky'omugatte gw'emizannyo gyonna (Overall winner) kye baawangula omwaka oguwedde mu kibuga Arusha ekya Tanzania nga bakiggya ku Kenya eyali ekyefuze emyaka emingi.

Uganda ebadde esuubira okuddayo okulwanirira ekikopo kino wabula kati bijulidde oluvannyuma lw'amasomero okuba amaggale nga n'ebyemizannyo bikyali ku muggalo olw'akawuka ka Corona Virus akalwaza ssennyiga omukambwe.

Okusalawo kuno kwatuukiddwaako Mande July 13, mu lukung'aana olw'akoleddwa okuyita ku mikutu gi mugatta bantu egya sosolo midiya(FEASSSA EXCOM) omwetabiddwa ba mmemba 13 okuva mu mawanga;Uganda, Kenya Tanzania, S.Sudan, Burundi ne Rwanda.

Chris Mugisha ssaabawandiisi w'olukiiko olutegesi eyeetabye mu lukung'aana luno yakakasizza ng'empaka zino bwe zisaziddwaamu okutuusa omwaka ogujja nga bwe beetegereza embeera bw'enebeera.

"Amasomero gonna okuva mu mawanga agabadde galina okwetaba mu mpaka zino gakyali kumuggalo ate tewali alina bukakafu ddi lwe ganaggulwawo, olukiiko olutegesi lusazeewo okusazaamu empaka z'omwaka guno nga bwe twetegereza omwaka ogujja bwe gunaaba," Mugisha bwe yakkaatirzza.

Agattako ng'ebifo ebitegesi bwe bitagenda kukyuka era buli yenna abadde alina okutegeka omwaka guno okuviira ddala ku mpaka ez'okusunsulamu wano mu ggwanga ajja kusigaza omukisa guno ssinga empaka ziddamu.

Mvara SS okuva mu Arua be babadde abategesi ba fayinolo za Copa coca cola, disitulikiti y'e Lira ba Ball Games ate Gulu ba Fresh Diary Games.

FEASSSA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Achile (owookubiri ku kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Asooka ku kkono ye Kyomya ate owookubiri ku ddyo ye Mandera Nsubuga.

Aba NRM basabye poliisi obu...

ABAKULEMBEZE b'abavubuka mu kibiina kya NRM mu ggwanga bawanjagidde poliisi okukomya omuze ogw'okulemesanga Robert...

Bp. Lwanga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nakaggwa. Mu ggomesi wakati ye Zziwa.

Bp. Lwanga avumiridde abeek...

SSAABASUMBA Dr. CyprianKizito Lwanga avumiridde abantu abeekalakaasa ekivaako okulumya abalala n'ategeeza nti balumya...

Bobi Wine ne Dan Magic mu ddwaaliro.

Omukuumi wa Bobi Wine ne Pu...

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP alidde kkava ekintu ekibadde ng'esasi bwe kimuyise ku mutwe. Mu kiseera kino abadde...

Ivan Boogere

Yusuf Babu owa COBAP ng'atw...

Mu Afrika U20 Uganda 3-1 Kenya GGOOLO za Ivan Bogere (2) ne Kenneth Semakula zaayambye The Hippos okwesogga...

Yusuf Babu owa COBAP ng'atwalira Paul Kayondo (Lukanga) eng'uumi.

Liigi y'ebikonde ejulidde

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw'ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisazizzaamu liigi yaakyo....