TOP

Onduparaka ereese Bainomugisha

Added 16th July 2020

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi wa Kigezi Home Boys eya Big League, Viali Bainomugisha abanoonyeze ekikopo ekisooka.

Vialli Bainomugisha

Vialli Bainomugisha

Sizoni bbiri ezzakaggwa, Onduparaka ekozesezza abatendesi bana okuli; Asaph Mwebaze,Livingstone Mbabazi, Leo Adraa ne Simeon Masaba ekibadde kitaddewo ekifaananyi eky'obutawangaaza batendesi, abalala nga bagamba nti ttiimu eyagala kukozesa abo bokka abava e West Nile.

Benjamin Nyakuni ssentebe wa ttiimu agamba nti omulundi guno baagala okuwa abatendesi obudde obumala basobole okunnyikiza ekyo kyebakola kuba bakizudde ng'obutawangaaza batendesi kitaataaganya omutindo gw'abazannyi.

"Viali atendeka omupiira ogunyuma era bwe twali mu Big League, Water FC gye yali atendeka yatuwanga akaseera akazibu, mu kaweefube w'okuzimba ttiimu okuviira ddala ku kakiiko ak'ebyekikugu,twagala buli mutendesi ajje ne b'anakola nabo era twagala okugulayo abasambi abawerako okuggumiza ttiimu gye tubadde nayo," Nyakuni bwe yategeezezza.

Bainomugisha agamba nti Onduparaka ttiimu nnungi era alinze omuggalo guggwe, atandike emirimu wabula ayagala kusooka kutuula n'ababadde baddukanya ttiimu eno alabe bazannyi ki abetaaga okwongeramu n'abo abasalibwako.

"Super league yanjawulo ku Big League ne liigi endala eza wansi, twetaaga okufuna abazannyi ab'enkizo nga mukaaga Onduparaka bw'eba yaakuvuganya ku kikopo, kirungi erina amaanyi g'abawagizi, ssinga twongeramu abazannyi ate kijja kuyitirira," Bainomugisha bwe yategeezezza.

Bainomugisha nga y'akulira akakiiko k'ebyekukugu ku ttiimu y'Essaza lya Buweekula atendeseeko; CATDA FC, Kisugu United FC,Water FC, Lweza FC, Mbarara City , Kabale Sharp ate eyitbwa Kigezi Home Boyz eya Big League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...