
Madoi
Ku Mmande July 13, 2020, Kaggwa yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu n'awera nga bw'azze okuteekawo okuvuganya mu ttiimu ate n'okwongera okuyiga ebintu ebirara bingi mu mupiira okuva eri omutendesi Douglas Bamweyana.
Kaggwa yasiimye nnyo omutendesi Abdallah Mubiru owa Police FC olw'okumufuula omuzannyi essaawa eno eyaayaanirwa ttiimu endala era n'amusuubiza obutamuswaza kuba amuwadde omusingi omunywevu.
"Ssanyu ggyereere okwegatta ku Wakiso Giants emu ku ttiimu ezisinga obulungi n'abawagizi abangi wano mu ggwanga, ngenda kukola ekisoboka okusitula ttiimu yange ate n'obutaswaza abatendesi gye nvudde," Kaggwa bwe yategeezezza.
Kaggwa azannya wingi zombi era okwegatta ku Police yava mu Synergy FC eyali ezannyira mu kibinja ekyokubiri ekya Big eague. Ono kati yeegasse ku Ibrahim Kasule amanyiddwa nga Owen Kasule Baba eyasooka okugulibwa Wakiso Giamts omwezi oguwedde.
Mu ngeri y'emu Wakiso Giants etadde Agrey Madoi ne yeegatta ku Bul FC ku ndagaano ya myaka ebiri. Ono azannyiddeko JMC Hippos, Vipers SC ne Police FC.