
Kino kiddiridde eby'enfuna n'ennyingiza mu by'ensimbi bya kkampini ya Plasconi okuddirira nga kati tebakyasobola kusasula bakozi bano bonna naddala mu kiseera kino ng'emipiira gyayimirira olw'ekirwadde kya Ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka Corona Virus.
Kino kitaddewo obunkenke eri abakozi bano olw'emirimu gyabwe okuggwaawo nga n'abamu abataagadde kwatuukirizibwa mannya bateebereza nti ttiimu yandiba ng'esaanyewo oluvannyuma lwa FUFA okusazaamu liigi ng'ebula emipiira gya sizoni musanvu, olwo Kansai Plascon FC n'esalwako okudda mu ligyoni.
David Bwire maneja wa Kansai Plascon FC akakasizza okusazibwamu kw'endagaano z'abakozi bano bonna ababadde baweereza omupiira wansi wa kkampuni ya Kansai Plascon wabula n'awakanya ekya ttiimu okusaanawo.
"Abakozi baffe tetubagobye naye tubawummuzaamu katono, kirungi tubadde tubasasula okuva omuggalo lwe gwatandik, kino wetukikoledde nga batubanja omwezi oguwedde (June) gwokka naye nagwo tugenda kugubasasula wabula emyezi egiddako tugenda kuba tetubasasula kuba kkampuni terina ssente ate eby'emizannyo byawummula," Bwire bwe yakakasizza.
Agattako nga bwe bajja okubayita baddemu bateeke okukono ku ndagaano empya ssinga eby'emizannyo biddamu kuba ttiimu ekyalindirira okusalawo kwa FUFA eri ebbaluwa Kansai Plascon FC gye yawandiika ng'ewakanya okusalibwako nga Big League tennasukka bitundu 75 ku 100 ebiri mu tteeka erikkiriza okulangirira omuwanguzi.
Sizoni eno yagenze okusazibwamu nga Kansai Plascon FC mu kibinja kya Rwenzori eri mu kifo kya musanvu n'obubonero 10 mu mipiira 11 waggulu wa New Villa FC(8) ne Doves FC(6).