
Anakuni
Ono eyajjidde ku bbanja okuva mu Proline FC eyasaliddwaako sizoni eno okudda mu Big League, yakakasiddwa ku Ssande ng'omuzannyi ow'okuna okwegatta ku KCCA FC oluvannyuma lwa Charles Lwanga, Ashraf Mugume ne Stefano Mazengo abaakagulibwa nga ttiimu yeetegekera sizoni ejja(2020/21).
Anukani 19, agamba nti okujja kwe mu KCCA FC azze kutangaaza mikisa gy'akugenda kuzannya gwa nsimbi era agenda kwongera nnyo okulinnyisa omutindo gwe okusobola okulwanira ennamba ku ttiimu esooka.
"KCCA FC y'emu ku ttiimu ze mbadde ngoberera obulungi, mmanyi ensamba yaabwe, mmanyi amaanyi n'obunafu ate nange nneetegeera bulungi, wansi w'omutendesi Mike Mutebi nnina okuzannyako ogw'ensimbi kuba ffenna kye tukolera," Anukani bwe yakakasizza.
Agattako nga bwe yasaalirwa ennyo omwaka oguwedde bwe baalemererwa okwesogga ebibinja bya CAF Confederation Cup nga kuluno ky'ekirooto ky'ayagala okutuukiriza ng'ali ne KCCA FC.
Moses Magero omwogezi wa KCCA FC akakasizza nga Anukani bw'agenda okugatta eky'amaanyi ku ttiimu yaabwe kuba bamaze ebbanga nga bamwetegereza nga gyebujja bandimugulira ddala.
"Anukani twabadde twagala kumugulira ddala wabula yabadde akyalina endagaano ne Proline FC, okuyita mu kuteesaganya, baamutuwadde ku bbanja lya mwaka gumu, abadde ku ttiimu y'eggwanga, azannyeeko CAF, CECAFA era tumusuubiramu bingi mu bbanga lye tugenda okubeera naye,"Magero bwe yategeezezza.
KCCAFC yalangirirwa dda FUFA nga bw'egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za CAF Confederations Cup oluvannyuma lw'okumalira mu kyokubiri mu liigi y'eggwanga sizoni eyaakaggwa.