
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala mu myaka 24 okusazaamu empaka zonna bukya omuzannyo gwa Basketball gutuuka ku ddaala ly'okuzannya liigi y'oku ntikko.
Uganda ebadde egenda kutegeka empaka za FIBA 3X3 Africa Cup wakati wa November 19-22 omwaka guno era ebadde yaakutegeka n'empaka za FUBA 3X3 ezisookedde ddala wano mu ggwanga okutumbula omuzannyo gwa Basketball wabula bino byonna kati tebikyabaddewo.
Okusalawo kuno kwakoleddwa akakiiko akafuga omuzannyo guno mu ggwanga (FUBA Executive committee) ku Lwokutaano July 23, 2020.
Nasser Sserunjogi Pulezidenti w'ekibiina ekifuga Basketball agamba nti liigi zonna babadde baziddukanyiza mu bbanga lya myezi mwenda(March-November), wabula kati basigazza emyezi ena emijjuvu okuwunzika omwaka, kyokka tekinnamanyika ddi emizannyo weginaggulwawo.
"Tuzze twegumya nga tusuubira nti tunaasobala okunyigiriza ne tuzannya kkalenda kumukumu naye tugenze okulaba nga ebbanga erisigaddeyo tetusobola wadde okuzannya ebitundu 50 ku 100, tusazizzaamu season kati tugenda kweyambisa ekiseera kino okwetegekera sizoni ejja," Sserunjogi bwe yategeezezza.
Agattako nti empaka zokka ze basigazza omwaka guno ze z'okusunsulamu eza 2021 Afrobasket qualifiers wakati wa November 27-29 mu kibuga Alexandria ekya Misiri. Uganda eri mu kibinja E omuli; Misiri, Morocco n'anawangula okuva mu zooni iii.
Agumizza abazannyi bonna ne bannabasketball ababadde baateeka omukono ku ndagaano nga zitandika n'omwaka guno nti zonna zijja okutandika okubalwa sizoni ejja.
"Obutafiirwa mwaka guno gwonna, ssinga Gavumenti eggulawo eby'emizannyo, tusuubira okutegekayo empaka ezaawamu omuneegattira abazannyi bonna, aba ‘Super' n'abebininja bya wansi n'ekigendererwa ky'okuzza emitima gy'abazannyi n'abawagizi ababadde baweddemu essuubi," Sserunjogi bwe yayongeddeko.
Sizoni y'omwaka guno yali yaakutandika mu March w'omwaka guno. City Oilers be balina ekikopo kya sizoni ewedde kye baakawangula emirundi musanvu egy'omuddiring'anwa.