TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abadde Kapiteeni wa UCU mu liigi ya yunivasite yeegasse ku Kyetume FC

Abadde Kapiteeni wa UCU mu liigi ya yunivasite yeegasse ku Kyetume FC

Added 27th July 2020

OMUZANNYI wa UCU Emmanuel Derrick Were mu liigi ya yunivasite yeegasse ku Kyetume FC mu liigi ya babinywera n’ayisa olugalo mu maaso nga yeebaza Katonda atuukirizza ekirooto ky’abadde nakyo emyaka 23 egiyise.




Were eyawangula engatto y'omuzannyi eyasinga banne bonna okwolesa omutindo omulungi mu Pepsi University League sizoni ewedde n'ayamba Uganda Christian University(UCU) okusitukira mu kikopo kyayo ekisooka mu myaka mukaaga, yabuze okufa essanyu ku wiikendi ng'ateeka omukono ku ndagaano ya myaka ebiri n'abakinjaagi(Kyetume FC).

Ono ng'asoma diguli mu by'obusuubuzi(BBA) ku UCU Mukono omwaka ogwokusatu, abadde yaakamala okuteeka omukono ku ndagaano ya sizoni emu n'Essaza lya Gomba, agamba nti abadde tamanyi nti ttiimu za ‘Super' zisobola okumulowozaako era n'awera okukola buli ekisoboka okulinnyisa omutindo gwe okuvuganya mu ‘Super'.

"Ddala Mukama gy'ali, kuva buto nga ndoota okuzannyirako mu liigi ya Uganda enkulu, ttiimu y'eggwanga (Cranes) n'okuzannya ogw'ensimbi naye mbadde sisuubira nti kati bwe budde ebirooto okutandika okutuukirira, kinyongedde amaanyi okukola obutaweera n'ebirooto ebirala bituukirire," Were bwe yategeezezza.

Were yaakawangula ebikopo by'Amasaza bisatu, 2015 ne 2018 ng'ali ne Ssingo, 2016 (Buddu).Waakuvuganya ne Joel Mutakubwa ku kifo kya ggoolo kippa mu Kyetume FC.

Ono ye muzannyi owookusatu okwegatta ku Kyetume nga beetegekera sizoni ejja 2020/21. Abasooka kuliko; Muhammed Rashid ne Ezra Bidda okuva mu Onduparaka ne Bernad Muwanga(Proline FC).

Sizoni ewedde Kyetume yamalira mu kifo kya 11 n'obubonero 30 mu mipiira 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....