
Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be
Agamba nti okutuukliriza kino, batandikidde mu kusonjola abasambi abalina obumanyirivu balage bamusaayimuto ekkubo. Kuliko; Tonny Mawejje, Hassan Mohammed, Eric Ssenjobe ne ggoolokipa Tom Ikara, eyaakateeka omukono ku ndagaano.
"Sisitiimu Police kw'ebadde etambulira sizoni eziwedde yakyuse. Abamu babadde batunuulira ttiimu nga kimpenkyekubire naye sizoni ejja bagenda kutuwuliramu omusera kubanga twagala bikopo," Mubiru bwe yategeezezza.
Police yakoma okuwangula liigi mu 2005, n'ekya CECAFA mu 2006, ate sizoni ewedde yamalidde mu kifo kya 13 n'obubonero 25.
Mubiru agattako nti ekirala ekigenda okubayamba kwe kubeera nti abazannyi bagenda kuzannyanga ng'emitima gibali wamu kubanga embeera y'endagaano zaabwe okuggwangako ne bagendera ku bwereere baaginogedde eddagala.
"Denis Rukundo, Johnson Odong, Yusuf Ssozi, Musa Matovu n'abalala bazzizza endagaano zaabwe obuggya, ate tukyasaggula abalala," bwe yakkaatirizza.
Ikara, abadde mu Mbarara City gye yagenda ku looni okuva mu KCCA, yategeezezza nti ng'oggyeeko okuyamba Police okuvuganya ku bikopo, ayagala kuzza mutindo gwe ngulu asobole okudda ku Cranes.
Okujja kwe kugenda kuteekawo okuvuganya ku kifo kya ggoolokipa asooka, ne Davis Mutebi, abadde akwatira Police sizoni ewedde.