TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Janet Museveni asimbudde ttiimu y'abaddusa ekwatidde Uganda bbendera mu z'e Bufalansa

Janet Museveni asimbudde ttiimu y'abaddusa ekwatidde Uganda bbendera mu z'e Bufalansa

Added 9th August 2020

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula okwolekera ekibuga Monacco e Bufaransa gy'egenze okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza ‘2020 Monacco Diamond League’.





BYA FRED KISEKKA

Empaka zino zaakuddukibwa August 14 mu kisaawe kya Stade Luis II.

Janet Museveni asimbudde ttiimu y'abaddusi bana abakuliddwa kafulu w'emisinde Joshua Cheptegei, Halimah Nakaayi, Winnie Nannyondo ne Stephen Kissa mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero.

Abakuutidde okukulembeza Katonda kuba y'agaba buli buwanguzi n'agattako n'okubasaba babeere beegendereza baleme okukomawo nga basiigiddwa akawuka ka coronavirus akeleeta ssenyiga omukambwe owa covid19.

Omukolo guno gwetabiddwaako ne Minisita w'emizannyo Hamson Obua, ssentebbe w'akakiiko ka NCS akafuga emizannyo mu ggwanga Don Rukare, ssabawandiisi waako Dr Patrick Ogwel, Pulezidenti wa UOC akakiiko akatwaala emizannyo gya Olympics mu ggwanga William Blick ne Pulezidenti w'ekibiina ekitwala emisinde mu ggwanga Dominic Otucet.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...