TOP

Wakiso Giants esudde 2

Added 9th August 2020

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri wabula bano bagenze bawera okwewuunyisa ababagobye nga bateekawo omutindo gye balaze.





Muwadda Mawejje ne Agrey Madoi be baasuuliddwa ttiimu ya Wakiso Giants wabula mu bwangu obw'ekitalo Police FC mu lligi y'emu, yeerondedde Muwadda n'emuwa endagaano ya myaka ebiri ate Bul FC nayo n'esitukira mu Madoi..

Ababiri bano beegatta ku Wakiso Giants mu July w'omwaka oguwedde ku ndagaano ya myaka esatu, Madoi yava mu Vipers SC ate Muwadda(KCCA FC) wabula tekisobose ku gimalako oluvannyuma lwa ttiimu okukizuula ng'omutindo gwabwe tebakyabagasa era ne babata banoonye ekibanja awalala.

Sula Kamoga akulira emirimu mu Wakiso Giants FC agamba nti abasambi bano baabagula nga sibaakubangula wabula okukakasa nga basitula ttiimu naye ebbanga lye babadde nabo bakizudde nga ne bwe balinda endagaano okuggwaako tebajja tebakukyalina kye bongerako.

"Omusambi omulungi teyeetaaga budde bungi, twatudde ne tulaba ng'okusigaza abasambi bano tugenda kuba tubafiiriza kuba bajja kuba tebazannya, ate nga ne ttiimu ebasasula, ne tukkaanya nabo banoonye awalala," Kamoga bwe yakakasizza.

Muwadda agamba nti musanyufu nnyo okwegatta ku Police FC kuba asuubira okufuna obudde ku kisaawe okulinnyisa omutindo gwe asobole okuddamu okuyitibwa ku ttiimu y'eggwanga(Cranes).

"Wakiso Giants kye bakoze nange kye mbadde neetaaga era natuukirira n'omugagga wa ttiimu nga njagala bante, kuba tekigasa kusigala ku ttiimu nga tosamba," Muwadda bwe yategeezezza.

Ono azannyiddeko SCVU, SC Villa, KCCA FC, Tooro United FC, Bright Stars FC ne Wakiso Giants.

Sizoni ewedde Wakiso Giants yamalira mu kifo kya 10 n'obubonero 30 mu mipiira 25, liigi esuubirwa okuddamu mu October 17 ssinga ekirwadde kya Ssennyiga omukambwe kikuba ku matu eby'emizannyo ne biddamu mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...