TOP

Owa Mobile Money asindikiddwa Luzira lwa kubba obukadde 50

Added 11th August 2020

Isima Mutagaya

Isima Mutagaya

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde 50 okuva mu Stanbic Banka.

Isima Mutagaya ow'emuaka 25 nga mutuuze w'okulyalo Njababona ekisangibwa mu disitulikiti ye Luuka yasindikiddwa mu kkomera oluvanyuma lwokuggulwako ogwobubbi nagwegaana.

Mutagaya avunaaniddwa yekka naye nga kiteberezebwa nti obubbi buno yabukola n'abantu abalala abatanakwatibwa.

Okusinziira ku ludda oluwaabi ssente zino obukadde 50 yaziba okuva ku ttabi lya Stanbic Bank erisangibwa e Nakivubo mu Kampala disitulikiti yadde nga ye abyegaana.

Olwamazze okugwegaana omulamuzi Doreen Kalungi amuwadde omukisa okusaba okweyimirirwa kyokka tabadde nabamweyimirira mu kkooti omulamuzi namusindiika ku limanda paka nga August 25, 2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...