TOP

Nunda yeesize Katonda ku ky'obuvune mu URA FC

Added 12th August 2020

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA FC.


 

Ku Lwokusatu omuwuwuttanyi Nunda yafuuse omuzannyi wa URA FC asoose okugulibwa omwaka guno mu kaweefube w'okulaba ng'abasolooza b'omusolo mu ggwanga beetegekera obulungi sizoni ejja (2020/2021) esuubirwa okutandika mu October.

Ono yeevuma obuvune obumulemesezza okuzannya obulungi omupiira mu KCCA FC gy'amaze emyaka esatu ekyamuviiridde n'okusalwako wabula agamba nti mu URA FC agenda kulwana okulaba ng'abeera ku mutindo ogukomyawo abawagizi be.

"Mpulira nga kati y'essaawa okulaga ekitone kya Nunda ekijjuvu, nzikiriza nga Mukama ye mubeezi wange sigenda kudda mu ntata zaabuvune era nga URA FC bw'entaddemu obwesige, sigenda ku baswaza," Nunda bwe yakakasizza.

Moses Kaduyu akola ku by'ensimbi mu ttiimu ya URA FC agamba nti okuleeta Nunda basoose kumwetoloola okuyita mu basawo abakugu era nebakizuula nga mulamu bulungi era bamusuubiramu bingi kuba ekitone akirina mu bungi.

"Twetweraliikiridde nsonga ya buvune kuba buli muzannyi asobola okulwala, naye okusinziira ku basawo baffe, Nunda mulamu okutuzannyira omupiira era tumulinamu essuubi," Kaduyu bwe yategeezezza.

Agattako nga bwe batagenda kugula basambi bangi sizoni eno kuba ttiimu yaabwe ekyali kabiriiti okubakolera kye baagala.

Sizoni ewedde URA FC yamalidde mu kifo kya 5 n'obubonero 40 mu mipiira 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...