
Mahad
Kakooza abadde azannyira mu Proline FC yeegasse ku Godfrey Lwesibawa, Arthur Kiggundu ne Isa Lumu abaakomawo n'omutendesi Bbosa okuva mu Tooro United FC eyasaliddwaako okudda mu Big League sizoni ewedde.
Bano baali bazannyi ba Express wansi wa Bbosa era babadde bamugoberera gy'alaga okuli; SC Villa ne Tooro United FC. Yakomawo mu Express ku nkomerero ya sizoni ewedde n'ataasa ttiimu okusalwako nga sizoni eno alowooza nti okubaawo kwabano kujja kuyamba Express okukola obulungi.
Bbosa agamba nti abasambi bano baweereddwa endagaano ya myaka ebiri buli omu olw'obumanyirivu ate nga bategeera bulungi ennono y'omupiira gwa Express.
"Bano baana b'awaka, okuva mu ttiimu tekitegeeza nti tokkirizibwa kudda ssinga oba weetaagibwa, abasambi bano bajja kutukolera kuba mbeesiga," Bbosa bwe yategeezezza.
Express kati ewezezza abasambi 8 be yaakaleeta nga yeetegekera sizoni ejja. Bano kuliko; Mahad Kakooza, Crispus Kusiima, Denis Otim, Musitafa Kiragga, Richard Bossa, Baker Sakah, Abel Eturude ne Godfrey Lwesibawa.