
Ku Lwokutaano Cheptegei ng'ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter, yalangiridde nga bw'agenda okwetaba mu misinde gy'ensi yonna egya mmita 10,000 (NN Valencia World Athletic Championship) nga October 7, 2020 mu Spain.
Likodi y'emisinde gino ekyasembyeyo yateekebwawo Bekele Kenenisa enzaalwa ya Ethiopia, emyaka 15 egiyise bwe yaddukira eddakiika 26:17:53 nga August 26, 2005 mu kibuga Brussels ekya Belgium.
Cheptegei agamba nti yeesunga bwesunzi lunaku lwa October 7, okutuuka kuba awulira akyalina ebbugumu n'amaanyi gaatakozesa kumalayo mu za Diamond League.
"Ndi musanyufu okulangirira nga bwe ng'enda okwetaba mu mbiro za mitta 10,000 omwezi ogujja, ekigendererwa kyakumenyawo likodi ya Bekele ate nga kubisizza mu ddakiika ze yakozesa emirundi ebiri kuba mpulira nkisobola," Cheptegei bwe yaweze.
Ono agattako nti yali yeegezezza mu misinde egya mitta 10,000 bwe yaddukira eddakiika 26:48:36 mu kisaawe kya Khalifa mu kibuga Doha ekya Qatar nga October 6, omwaka oguwedde.