TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kiplimo avudde mabega okuwangula mitta 5000, Nanyondo akutte kya 9

Kiplimo avudde mabega okuwangula mitta 5000, Nanyondo akutte kya 9

Added 9th September 2020

MUSAAYIMUTO wa Uganda mu mbiro empanvu Jacob Kiplimo,avudde mabega okumegga banne mu misinde gya mitta 5000 n’ateekawo likodi empya.




Ekiro ky' Olwokubiri September 8, 2020, Kiplimo 19, yavudde mabega okuwanulayo omuthiopia Selemon Barega eyabadde aleebya banne okuva ku ntandikwa.

Ng'ebula emyetooloolo ebiri, Kiplimo yamuyisizaako emisinde era n'akuuma ekifo ekisooka ng'addukidde eddakiika 12:48:63 ate munne n'amalira mu kyokubiri (12:49.08).

Baabadde mu mpaka za IAAF Golden Spike 2020 Athletics Meeting mu kibuga Ostrava ekya Czech Republic.

Kiplimo y'alina omuddaali gw'ensi yonna ogwa ffeeza mu mbiro ez'okwetooloola ebyalo (World Cross Country silver medalist) gwe yawangula omwaka oguwedde. Guno omwaka agutandise na kumenya likodi ya munnakenya Steven Cherono (12:48.81) ebaddewo mu misinde gya mitta 5000.

"Natandise nga njagala kifo kisooka, era obwedda nziruka bwe nnyongeza nga bwe mbala abankulembedde era Mukama yabadde mwesigwa n'ampanguza," Kiplimo bwe yategeezezza.

Mu ngeri y'emu munnayuganda Winnie Nanyondo yamalidde mu kifo kya 9 mu misinde gya mitta 1500 gye yavuganyirizaamu e Czech Republic.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu