
Ali Tomusange
Ddiifiri alina obuyinza okuyimiriza omuzannyo ng'alabye ekisobyo, y'ensonga lwaki ateekeddwa okuba nga yasoma n'atendekebwa mu mateeka gano, ate ng'abasawo baamwekebejja amaaso. Ateekeddwa okulaba ekisobyo n'ataputa ekiddako, omuzannyo n'aguzzaamu mu bwangu.
Wabula ddiifiri alina obuyinza obuyimiriza omuzannyo okumala ekiseera ekiwanvuko. Okugeza, akavuyo akayinza n'okusaasaana mu kisaawe; enkuba ng'etonnya nnyo, oba ng'erimu okubwatuka kw'eggulu oba omuzira, oba amazzi amangi nga tegakkiriza mupiira kutambula bulungi. Wano alina okuyimiriza omuzannyo okutuusa ng'embeera ezze mu nteeko, obudde bwe buba bugumala okuzannyibwa okutuuka ku nkomerero. Alina okujjukira omupiira we gwakomye, n'ekyabaddewo, era awo omuzannyo we gutandikira.
Bye njogeddeko waggulu bwe bitakkakkana, etteeka limulagira 'kuyiwa' muzannyo, n'akola lipooti eri abaamutumye, era be basalawo ekiddako. Ddiifiri talina buyinza bulangirira bivudde mu muzannyo, akola lipooti, abaddukanya empaka be balangirira. Tukirabye nga ttiimu ne bwe ziba ziwangudde, ate ne ziggyibwako obuwanguzi.
Kye tuyita 'advantage' kiri mu mikono gya ddiifiri. Wano weetaagawo obukugu era kino kye kimu ku biraga obumanyirivu bwe. Ddiifiri agigaba ng'alabye nti ttiimu ekoleddwaako ekisobyo efunamu nnyo ng'omuzannyo teguyimiridde.
Akola akabonero akalaga nti ekisobyo akirabye, wabula akkiriza omuzannyo gugende mu maaso. Era etteeka limukkiriza okuddamu okuyimiriza omuzannyo bw'alaba nga ttiimu eyakoleddwaako ekisobyo tefunyeemu, n'abawa 'free kick', ne kaadi eya kyenvu, bwe kiba kyetaagisizza.
Omuzannyi ng'alumiziddwa, kiri mu buyinza bwe okuyimiriza omuzannyo mu bwangu n'ayita abasawo, oba okuguleka, bw'alaba nga talumiziddwa nnyo. Ng'omuzannyo guyimiridde, asobola okwogera n'omuzannyi ku ky'okuyita omusawo, era takkiririza ddala oyo alina ekiwundu oba omusaayi ku mubiri oba ku mujoozi, kubeera ku kisaawe.
Omuzannyi eyafulumiziddwa okufuna obujjanjabi takkirizibwa kukomawo ng'omuzannyo tegunnaddamu.' Abadde n'omusaayi, alina kumala kwekebejjebwa nga takyagulina, nga kino kikolebwa okwewala obulwadde.
Ddiifiri alina obuyinza obulaga omuzannyi, sabusityuti oba abakungu ba ttiimu kaadi yonna, okusinziira ku kikoleddwa. Eya kyenvu erabula bulabuzi, ate emmyuufu efuumuula ku kisaawe.
alitomusange12@gmail.com. 0772624258