TOP

Simanyi bungi bwa miggo gye nnakuba Magogo - Nnyina

Added 15th September 2020

Nnalukanga emikeeka, ebitambaala, n’okubumba ensuwa okufuna fiizi za Magogo.

Magogo (ku kkono), nnyina Babirye ne bannyina.

Magogo (ku kkono), nnyina Babirye ne bannyina.

Bwatyo Safiyati Babirye 81, nnyina wa pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, bw'atandika emboozi ng'ayogera ku bulamu bwa mutabani we, eyawangudde akamyufu k'okukwataira ekibiina kya NRM bbendera ku bubaka bwa Palamenti (Budiope East) e Buyende.

Ndi musanyufu okubeera omu ku bakazi abazadde abaana abafuuse ensonga mu Uganda ne mu nsi yonna, y'essaawa Magogo adde ku butaka aweereze Abataka be yaliiranga emiyembe.

Omupiira yagwagala kuva mu buto, ng'azannya gya byayi, era mu kusoma kwonna okutuuka ku yunivasite teyaguvaako. Yagwerukiranga, nga bwe gukaddiwa akola omulala. Yagendanga nagwo ku ssomero asambe ne banne, ku Kagulu Pulayimale gye yatandikira P1 n'okutuulira P7.

Yalwangawo okudda ate nga nnalinga njagala annyambe ku mirimu, era nnagezaako okumuggya ku mupiira nga mmukuba, n'okumugamba nti gumumalira biseera, naye era teyaguta. Simanyi bungi bwa miggo gye nakuba Magogo!

Bwe yamala diguli y'obwayingi-niya bw'amasannyalaze, yasambira ku kiraabu z'omupiira ez'enjawulo gye byaggweera nga yeesozze FUFA, okukkakkana nga y'agikulembera!

Abadde akyakola egya FUFA ate ebyobufuzi ne bimukwata omubabiro, era lwasoose okubyetabamu, n'awangulirawo. (Magogo yafunye obululu 59, 059, n'addirirwa omubaka Geoffrey Dhamuzungu 13,756, David Takozekibi 930, Mustapha Kalwaza 520 ne Sulaimani Kirunda Balyejusa ku 134).

ENGERI GYE NNATOBA NE MAGOGO

Nze ani atuuka ku kkula lino! Bwe nzijukira bwe ntobye ne Magogo okuva mu buto, nga tusula mu kayumba akatono ng'ate ka ssubi, ekitiibwa nkiddiza Mukama.

Mu kiseera kino nnali nfuuse nnamwandu, oluvannyuma lwa taata w'abaana bange, Samuel Zziwa okufa. Twabelanga Bulangaire mu ggombolola ly'e Kagulu, nga n'olumu tusula njala.

Emirimu mwe nnafunanga ssente mwalimu okuluka emikeeka, ebitambaala eby'oku mmeeza, obutambaala obw'omu ngalo, beedirayini, ssaako okubumba ensuwa, ensaka ezifumba ennyama n'obusumbi mwe basogolera omwenge.

Ebbumba twaliggyanga mu kirombe eky'e Kibooyo ekyesudde kiromita bbiri okuva we twabeeranga, nga turyetikka ku mitwe, ate bwe nnamalanga okuluka nga mbitundira mu katale k'e Igwaaya. Kuno nnagattako n'okutunga ebiteeteeyi, nga ne mu kiseera kino nkyakikola.

Okuva obuto, Magogo yabeeranga muwanguzi, kuba ku kucanga akapiira yagattako amagezi g'omu kibiina, ebyamuweesanga bbasale, ne kimpewula ku ffiizi.

BY'ASINGA OKUJJUKIRA

Obulamu bwange n'obw'abaana bange mbutambuliza ku musingi gwa bukozi, obutava ku mulamwa n'okuba omwesigwa.

Wadde nkuze, obukozi bukyandi mu ngalo ne mu bwongo, era n'emikeeka nkyagiruka.

Nneebaza Katonda olw'obulamu bw'ampadde, okuli okuntaasa okufa. Omusota gwambojjako emirundi esatu mu biro eby'enjawulo, era lumu nakoma ku mugo gwa ntaana.

Nnali mu ddiiro mbuzaayo ssaawa busaawa okuziikibwa, wabula omusajja Omuteso n'amponya.

Yali yeetambulira bibye, n'akyama n'abuuza ekisse omufu, ne bamugamba nti musota. Yagaana abataka okunziika n'adduka ku ttale n'anoga eddagala lye yatabula mu kaamulali n'alintonnyeza mu nnyindo ne njasimula, abakungubazi ne babuna emiwabo. Gye byaggweera nga 'nzuukidde', era olwo lwe nnakakasa nti abojjeddwa omusota oluusi baziika mulamu.

OBUBAKA ERI BANNAMWANDU

Bannamwandu bannange, abasajja baleme kubawuddiisanga nga babaggya mu maka ga babbammwe. Musigalenga n'abaana bammwe mubakuze kubanga abasajja abasinga tebalina mitima gikuuma baana batali baabwe.

Ate mubeere bakozi nga mulina 'vizoni' y'amaka omuli okuweerera abaana, n'okubayigiriza okukola, sso si bangalobunani.

MAGOGO KY'AYOGERA KU NNYINA

Maama ye muzira wange kubanga yakola butaweera okulaba nga tusoma n'okufuna ebintu ebirala.

Wa kisa, ayaniriza buli omu era nange kwe nakikoppa, y'ensonga lwaki buli we mbeera tewaggwa bantu. Yatulabiriranga bulungi ng'afumba emmere ewa amaanyi n'amagezi, era nkakasa bye bimu ku byanfuula kyendi.Abaana musse mu bazadde ekitiibwa, kitangaaze emikisa egy'obulamu bwammwe egy'omu maaso.

BAABITEGEEZEZZZA T. GWEBAYANGA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...