TOP

Klopp ne Lampard beeyogeredde ebisongovu

Added 15th September 2020

NG'EBULA ennaku nnya Liverpool ne Chelsea zambalagane mu Premier, abatendesi Jurgen Klopp ne Frank Lampard bagguddewo olutalo lwa bigambo.




Klopp yagambye nti, "Abamu ku batendesi bannange ssente bazisaasaanya kuba za ggwanga wabula ezaffe bakama bange bazikola bukozi era bamanyi bwe zimenya." Kino kyaggyeeko Lampard waya n'addiza Klopp omuliro nti, "Sirowooza nti okugula Van Dijk, Alisson, Fabinho, Keita, Mane, Salah obuwanana oba tosaasaanyizza.

Puleesa y'obuteddiza kikopo Klopp emulinnye bukyali." Ababiri bano embiranye yaabwe yatandika sizoni ewedde mu nsiike yaabwe eyasembayo.

Liverpool, eyali eyagala wiini okusukka obubonero 100 emenye likodi ya Man City bwe yawangulirako Premier, bwe yakubwa Chelsea ggoolo 5-3.

Oluvannyuma Lampard yavaayo ajerega Klopp nti wadde yawangula ekikopo alina okukomya amalala.

Chelsea, esaasaanyizza ssente ezisukka mu bukadde 200 obwa pawundi okugula Timo Werner, Kai Havertz, Hakim Ziyech ne Ben Chilwell n'abalala abataategeerekese miwendo.

Abatendesi bano baddamu okusisinkana ku Anfield ku Ssande mu Premier.

Liverpool yalumye n'ogwengulu okuwangula Leeds (4-3) mu mupiira gwayo ogusooka ate Chelsea yazannye Brighton eggulo (Mmande).

Chelsea yakwata kyakuna mu Premier ya sizoni ewedde nga kati erwanira kikopo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...