TOP

UPDF epasudde omutendesi wa Police FC

Added 15th September 2020

UPDF FC eyaakasuumusibwa okujja mu liigi ya babinywera eyongedde okunyweza ekitongole ky’abatendesi bw’eyongeddeko Pius Ngabo abadde omumyuka wa Abdallah Mubiru ku Police FC.

Ngabo

Ngabo




Leero ku Lwokubiri ono aweereddwa endagaano ya myaka ebiri ng'omumyuka asooka ow'omutendesi Kefa Kisala ng'adda mu kifo kya Simeon Masaaba eyasaze eddiiro okwegatta ku Wakiso Giants FC gye buvuddeko.

Ashraf Miiro akulira emirimu mu UPDF FC agamba nti omutendesi Kisala baamwesiga nga bamuwa omulimu era bagezezzaako okumuwa buli muntu gweyetaaga okukola naye nga kw'otadde n'abazannyi obutabaawo kwekwasa kwonna.

"Omutendesi Ngabo yali akozeeko ne Kisala ku Express FC, tukkiriza nti basobola bulungi okukwatagana ttiimu yaffe n'ekola bulungi mu ‘Super' sizoni ebindabinda," Miiro bwe yakakasizza.

Ngabo agamba nti Kefa Kisala y'omu ku batendesi abalungi mu ggwanga lino, bw'aba amutaddemu obwesige okumumyuka, tayinza kukisimbira kkuuli naddala nga ne ttiimu etuukirizza ebyo by'ayagala.

"Mpise mu mikono gy'abatendesi abalungi okuli Abdallah Mubiri, Kefa Kisala n'abalala, bano bwe baba bampadde omukisa siyinza ku gugaana kuba mbeesiga ate nabo banneesiga," Ngabo bwe yategeezezza.

Ekifo kino kibadde kivuganyizibwako abatendesi abalala okuli; Sadiq Ssempigi ne Richard Kiwanuka Tamale amanyiddwa nga ‘Pinto'.

Kisala kati waakumyukibwa Ngabo ne Ssaka Mpiima gwe baggya mu Proline FC gye buvuddeko.

Mu ngeri y'emu, UPDF FC yatadde abazannyi 10 okuli; Junior Akena, Moses Kamya, Fred Kalanzi, Enock Omakira, Davis Kamisita, Abbas Kiberu, Rogers Ahumuza, Sydney Ssenyonga, Titus Lubega, Godwin Kawagga, Abdul Karim Kasule, Joseph Maria Lubega ne Emmanuel Egau.

Ate Andrew Waiswa, Douglas Kisembo, Ronald Owinyi, Ezekel Katende, Robert Nakyenalire, Denis Ssekitoleko, Najib Tusaba, Christopher Kawuga be bazannyi abaweereddwa endagaano empya okuva kw'eyo ttiimu eyazannya Big League.

UPDF FC ne MYDA FC ze ttiimu ezaayitawo butereevu okuva mu Big League sizoni ewedde okuwesogga ‘Super' nga bwe balinda oluzannya lwa ‘playoffs" wakati wa Kiboga Young FC, Kitara FC, Ndejje University FC ne Kataka United FC okufunako ttiimu eyokusatu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...