TOP

Roy Mubiru awangudde zzaabu mu world Cup y'obuzito

Added 16th September 2020

MUNNAYUGANDA omusituzi w’obuzito Roy Mubiru awangudde omuddaali gwa zzaabu mu mpaka z’ensi yonna (2020 WPA World Championship) mu Amerika.

Roy Mubiru

Roy Mubiru

Ku Mmande September 14,2020 Mubiru yatadde bbendera ya Uganda ku ntikko bwe yeetabye mu mpaka z'obuzito bw'abali wakati w'emyaka 40-45 obutandikira ku kkiro 125 wabula munnayuganda ono yayissewo bwe yasitudde omugatte gwa kkiro 1502.

Empaka zino zaabadde mu ggiimu ya Steel Beach mu kibuga Oakville Connecticut mu Amerika.

Mubiru yeebazizza Katonda olw'obusobozi bw'amutuusizzaako mu kadde k'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka Corona akatamugannyizza kufuna kutendekebwa kumala naye n'awangula.

"Mbadde mbonaabona okufuna wentendekerwa olwa ggiimu okuba nga tezikkirizibwa kukola naye mukweyiiya okungi Mukama ampadde obuwanguzi," Mubiru bwe yategeezezza.

Mubiru okwetaba mu World Cup y'obuzito eno, kyaddirira bwe yawangula zzaabu mu mpaka z'omwaka oguwedde (2019 Lutsk World Championship) ezaali mu kibuga Washington Bremerton ekya Ukraine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu