TOP

Gareth Bale nnamwagala dda - Jose

Added 16th September 2020

Mu kwagala okufuna enkolagana ey’amangu ne Gareth Bale, omutendesi wa Spurs, Jose Mourinho agambye nti yalwanako okumugula ng’akyatendeka Real Madrid n’alemesebwa.

Mourinho ne Bale

Mourinho ne Bale




Bale 31, asemberedde okudda mu Spurs eyamutunda pawundi obukadde 85 mu Real Madrid mu July wa 2003 nga wayise emyezi ebiri gyokka nga Mourinho ne Real baawukanye.

Real yakkirizza okusasula ekitundu ku musaala gwa Bale (afuna pawundi emitwalo 50 buli wiiki) era Mourinho yagambye nti Bale y'omu ku bazannyi be yeetaaga okussaawo okuvuganya okw'amaanyi mu Premier.

Spurs bw'egula Bale, yaakusasula ekitundu ku musaala gwe (pawundi emitwalo 25 buli wiiki) kyokka ng'era ajja kuba asinga Harry Kane (pawundi emitwalo 25) ne Dele Alli (emitwalo 50).

Bale aludde nga takolagana na Zinedine Zidane, atendeka Real wadde nga ye yayamba ttiimu eno okuwangula Champions League ya sizoni 2017-18 bwe yava ku katebe n'ateeba Liverpool ggoolo bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...