
Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.
URA yasemba okuwangula liigi y'eggwanga mu sizoni ya 2010/11 sso nga sizoni ewedde yamalidde mu kyakutaano.
Ng'ayanjula akulira emirimu omupya, Henry Mayeku, yagambye (Kizza) nti ku mulundi guno tebaguze nnyo bazannyi naye ttiimu bagitegese bulungi era bagirinamu essuubi okuwangula ebikopo.
Omukolo gwabadde ku kitebe kya URA e Naggulu nga gwetabiddwaako omutendesi Sam Ssimbwa, maneja Sam Okabo, omuwandiisi Moses Kaduyu n'abakungu abalala.
Mayeku yeebazizza Kizza ne banne okumwesiga okumuwa omulimu guno nti obumanyirivu bwe bwakwongera ku URA FC.