TOP

KCCA FC etadde Omunigeria Egbuonu lwa mutindo gwa kibogwe

Added 24th September 2020

KCCA FC mu liigi ya babinywera esazeeko omunigeria John Egbuonu Odumegwu olw’omutindo gwe okugaana okumukka mu sizoni ennamba gy’amaze ne ttiimu.

Omunigeria John Odumegwu KCCA emutadde lwa mutindo gwa kiboggwe

Omunigeria John Odumegwu KCCA emutadde lwa mutindo gwa kiboggwe




Ono kati yeegasse ku bazannyi nga; Erisa Ssekisambu, Saddam Ibrahim Juma, Tom Ikara, Jackson Nunda, Jamil Malyamungu, Mustafa Kizza, Mike Mutyaba, Eric Ssenjobe ne Muzamir Mutyaba.

Mu kiwandiiko ekyasiddwa ku mukutu gwa ttiimu ku Lwokusatu, Micheal Kirunga akulira emirimu yakakasizza nga bwe batadde Odumegwu era ne bamwagaliza olugendo olulungi gy'alaga.

"Twakkiriziganyizza n'omuzannyi okumuta anoonye ttiimu endala emwetaaga, olw'enkyukacuuka ez'enjawulo tukizudde nti ssinga asigalawo tuyinza okulabika ng'abakotoggera ekitone kye nga tafuna budde ku kisaawe," Kirunga bwe yategeezezza.

Wabula agava mu nkuubo, ng'oggyeeko okuba nti omuzannyi ateebye ggoolo emu yokka sizoni ewedde, kigambibwa nti ensonga z'ono okukwatibwa Poliisi gye buvuddeko olw'okuwamba abawala ba MUBS zandiba nga ze zimuzaalidde ebitukula.

December 7, 2019, Ogbounu 25, yakwatibwa Police nga kigambibwa nti yali aggalidde abawala basatu(Grace Nakibuuka, Margaret Namutebi ne Joan Mirembe) mu muzigo gwe gye yali asula Mutungo Biina, mu ngeri y'okubawamba okumala essaawa kkumi era ono yasibibwa wabula oluvannyuma n'ateebwa ku kakalu ka Police.

KCCA FC sizoni ewedde yamalira mu kifo kyakubiri emabega wa bakyampiyoni Vipers SC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...