TOP

VAR y'asinga amazima

Added 29th September 2020





Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa omuzibizi oba ggoolokipa, oba okusazibwamu nga waliwo omuteebi akoze ekisobyo, ggoolo okunywa oba nedda awamu n'ebisobyo ebiragirwako kaadi emmyuufu.

Ggoolo ng'emaze okunywa, VAR ekkirizibwa okutunulako emabega awavudde olulumba. Bwe kiba kyetaagisa nga wayinza okuba nga wabaddewo ekisobyo, ggoolo ettibwa ne basimula ekisobyo ekyakoleddwa.

ManU 1 Crystal Palace 3

Ddiifiri Martin Atkinson ye yalagira VAR okwekebejja ezuule oba ddala Lindelof yakwata omupiira era ne kikakasibwa nga yagukwata. Andre Ayew yakuba peneti, De Gea n'agikwata, ddiifiri Atkinson era n'alowooza nti De Gea yaggye ebigere byombi ku layini nga Ayew tannakuba mupiira. Kino kisobyo! Kattivvi kaakakasa nga kituufu era peneti n'eddibwamu.Etteeka bwe liragira!

Etteeka likkiriza okukyusa omukubi wa peneti era Wilfred Zaha ye yaddamu okugikuba n'ateeba. Ekirala, ttiimu ekkirizibwa okukyusa ggoolokipa nga peneti ekubwa n'eteekamu omuzannyi ow'omu maaso! Wabula ono ateekwa okwambala omujoozi gwa ggoolokipa.

Era kikkirizibwa ggoolo n'addayo mu ggoolo nga kino kikolebwa omuzannyo guyimiridde ne baddamu okwambala emijoozi gyabwe emituufu.

Brighton 2 ManU 3

Ddiifiri Chris Kavanagh yafuuye ffirimbi esembayo ng'omupiira guli 2-2. Wano abazannyi ba ManU we baamusaliddeko nti Maupay owa Brighton akutte era nga bw'afuna obubaka okuva mu VOR.

Enkola ya VAR eringa ey'abawuubi b'akatambaala abayamba ddiifiri. Bwe wabaawo ekisobyo ekikoleddwa nga takirabye, owaakatambaala bw'amugamba, asobola okukolera ku magezi ago n'asalawo ekyetaagisa. Era akkirizibwa okukolera ku magezi ga VAR ng'amalirizza omuzannyo oba ekitundu ekisooka oba mu 'Extra time' nga tannava ku kisaawe.

Ddifiri bw'afuna obubaka amangu ddala nga yaakamaliriza omupiira, etteeka limuragira okutangira abazannyi okuva ku kisaawe akole ku bubaka bwa VAR, yeetegereza ekiri ku kattivvi k'oku kisaawe. VAR bw'ezuula nga ddala waliwo ekisobyo ekyetaagisa okubonerezebwa, etteeka liragira ddiifiri okuyimiriza omuzannyo n'akola ekyetaagisa.

Kavanagh bwe yeetegerezza ekiri mu VOR, yazudde nga Maupey okubuuka, emikono gye yagiggye yagiragajjalidde mu bbanga ne gufiiriza omupiira ogwatomeddwa Maguire okugenda obulungi mu ggoolo. Etteeka liramula nti eyo 'handball'.

Okuwuliriza n'okutunula ku ka tv kitwala obudde. Peneti ya ManU yakubiddwa mu ddakiika ya 10 ng'e 90 kiweddeko.

Spurs 1 Newcastle 1

VAR yatemezza ku ddiifiri Peter Bankes nti Eric Dier owa Spurs mu kubuuka atomere ku Andy Carroll omupiira, yagumusooseeko omupiira ne gukuba ku mukono gwe ng'agiwanise mu bbanga. Mu ntaputa ya handball, ogwo musango ogubonerezebwa ne 'direct free kick' oba peneti bw'aba akwatidde mu ntabwe.

Wadde ng'etteeka likkiriza okugaba peneti nga ddiifiri amalirizza omuzannyo, baddiifiri baweebwa amagezi okusooka okwebuuza ku VAR oba tewali kizibu kyonna okwewala ekikolwa ekyo ekikutula abantu emitima.

alitomusange12@gmail.com

0772 624 258

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.