TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ab'ensambaggere basabye Minisita Obua ayingire mu nsonga zaabwe

Ab'ensambaggere basabye Minisita Obua ayingire mu nsonga zaabwe

Added 9th October 2020

ABAZANNYI b’ensambaggere mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo basabye Minisita w’emizannyo Hamson Obua ayingire mu nsonga zaabwe ataase omuzannyo gwabwe.
Bano bakulembeddwa abazannyi okuli; Umar Semata, Titus Tugume, Ausi Mbaata, Alex Masiko n'abalala abeegatiddwaako kiraabu ezavuddemu mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo ne bateeka omukono ku kiwandiiko kye bagenda okukwanga Minisita Obua ekiraga obutali bumativu ku ngeri akakiiko ka NCS akatwala emizannyo mu ggwanga gye kalemezza Patrick Luyooza ku bwapulezidenti bw'ensambaggere ne kasimbira ekkuuli Malik Kaliisa gwe beerondera.

Bagamba beekubiidde enduulu mu kakiiko ka NCS okumala ebbanga ku y'obukulembeze bwabwe ne batayambibwa nga kye kiseera Minisita Obua aziyingiremu.

"Ekimala kimala twagala Minisita Obua ayingire mu nsonga zaffe, NCS ejjukire ensambaggere ze zibadde ziyimirizaawo famire zaffe nga bw'etandika okwekobaana n'abantu be twagoba nga basse omuzannyo gwaffe eba etusindise kulya ku kasasiro," Abamu ku bazannyi b'ensambaggere okwabadde Kikenwa, Semata ne Tugume bwe baategeezezza.

Baakung'aanidde ku 'Si Bwangu Hotel' esangibwa e Natete era bakubisiza ebipande ebisaba Luyooza akomye okweyita pulezidenti w'ensambaggere ekitali kituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.