TOP

Ow'emifumbi eyatemwako okugulu awera kudda na maanyi

Added 9th October 2020

EYALI kafulu mu kusiba emifumbi, Swafalu Tamale afunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna okugulu okuzungu okwamuweereddwa jjiimu ya University of Pain ng’eri wamu n'eddwaliro lya CoRSU Rehabilitation Hospital e Ntebe.

EYALI kafulu mu kusiba emifumbi,Swafalu Tamale afunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna okugulu okuzungu

EYALI kafulu mu kusiba emifumbi,Swafalu Tamale afunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna okugulu okuzungu





Ku ntandikwa y'omwaka guno Tamale yafuna akabenje akaatuuka okumusazaako okugulu kwe okwa ddyo.

Annyonnyola nti nga February 28, yali agenda mu jjiimu, mmotoka n'emutomerera ku madaala e Kibuye yagenda okudda engulu ng'ali mu ddwaliro. 

Tamale agamba nti olufunye okugulu kuno okuzungu agenda kudda engulu atandikire we yakoma era banne bamwerinde kuba ekirooto kye kituukiridde mu kaseera akalungi. 

"Ndi musanyufu byansusso okulaba nga nziramu okuddamu okutambula kuba nali simanyi oba naava ku miggo wabula neebaza Katonda, Bukedde olupapula abaasooka okufulumya emboozi yange nga ndaajana eyasobola okuggyayo jjiimu ya University of Pain n'eddwaliro lya CoRSU abafubye okulaba nga nziramu okuddamu okutambula," Tamale bwe yategezezza. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.