TOP

Eza Big League zizzeemu okuttunka

Added 19th October 2020

Kitara FC - Kataka United FC

Kiboga Young FC - Ndejje University FC

Gyonna giri Njeru technical center e Jinja.

OLUVANNYUMA lw'emyezi 7 ng'ebyemizannyo byaggalwa olwa Covid-19, leero (Mmande) ttiimu za Big League ziri mu nsiike okubbinkanira ekifo ky'anakiika mu ‘Super' sizoni 2020/21 ebindabinda.

Obusungu bwa Kitara FC sizoni ewedde okulemererwa okwesogga ‘Super' bwe yakubirwa ku mutendera gwa ‘playoffs' e Lugogo, eyagala kubumalira ku Kataka eyaakatuuka ku mutendera guno omulundi ogusooka mu sizoni ttaano z'emaze mu Big League.

"Eno sizoni yaffe ya 4 mu Big League, omwaka oguwedde twalemererwa naye kuluno tetugenda kukkiriza jjoogo," Joshua Atugonza akulira emirimu mu Kitara bwe yaweze.

Sefu Wasike amyuka akulira emirimu mu Kataka United amwanukudde nti ennyonta gye balina ey'emyaka etaano nga tebava mu kibinja ku luno bagala kwekutulako kkoligo era bamaliridde okufa n'omuntu.

Mu ngeri y'emu Kiboga Young etendekebwa Richard Makumbi eyaakasuumusa ttiimu za Big League 9 mu byafaayo attunka ne Ndejje University ebadde yaakasalwako okuva mu ‘Super' sizoni ewedde nga baagala kukomawo.

"Tetufunye kutendekebwa kumala olw'embeera ya Covid-19 naye ate tuli mu mbeera nnungi era tugenda kufa n'omuntu," Makumbi bwe yategeezezza.

Raymond Komakech atendeka Ndejje agamba nti obumanyirivu bwe baafuna mu ‘Super' sizoni ewedde bwe bugenda okubawa enkizo. "Omupiira si gwa bigambo era ffe tujja nabikolwa," Komakech bwe yakakasizza.

Ttiimu zonna zisuzibwa Njeru era ababiri abayitawo leero(Mmande) baakuttunka enkya ku fayinolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...