TOP

Kitara FC yeesozze 'Super'

Added 22nd October 2020

OKUMALA sizoni 4 nga Kitara FC mu Big League teroza ku buwoomi bwa kuzannyirako mu ‘Super’, emaze neyeggyako ekikwa.




Ku Lwokusatu October 21, 2020, Kitara yakomeredde Kiboga Young FC omusumaali gwa ggoolo (1-0) mu fayinolo y'okulwanira ekifo kya ttiimu eyookusatu okwesogga ‘Super' sizoni ejja.

Ng'eyita mu ggoolo ya Brian Mayanja Muluuli mu ddakiika eya 55, Kitara yeegasse ku MYDA FC ne UPDF FC ezaayitawo edda okuweza ttiimu 16 ezigenda okwetaba mu Star Times Uganda Premier League esuubirwa okutandika omwezi ogujja.

Ng'oggyeeko sizoni yaabwe eyasooka 2016/17 ne 2018/19 ze bataava mu kibinja, 2017/18 baawandukira ku luzannya lwa ‘Playoffs' e Lugogo ate 2019/20 ne batuukiriza ekirooto kya ‘Super'

 "Ebyafaayo biwandiikiddwa, twebaza Katonda kuba tegabadde maanyi gaffe era tugenda kutandikirawo okutendekebwa kuba liigi ya mwezi gujja," Joshua Atugonza akulira eby'emirimu mu Kitara bwe yaweze.

Omupiira gw'abadde ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...