TOP

Obukulembeze bw'ensambaggere bukyali mu lusuubo

Added 22nd October 2020

ABAZANNYI, abakungu n'abawagizi b'omuzannyo gw'ensambaggere, bakyalinze okumanya omukulembeze waabwe omutuufu.

Golola ne Abu Kikenwa nga battunka mu nsambaggere gye buvuddeko

Golola ne Abu Kikenwa nga battunka mu nsambaggere gye buvuddeko

ABAZANNYI, abakungu n'abawagizi b'omuzannyo gw'ensambaggere, bakyalinze okumanya omukulembeze waabwe omutuufu.

Malik Kaliisa, akulira ekiwayi ekimu, yawawaabira Patrick Luyooza ng'amulanga okwerimbika mu kifo kya pulezidenti. Kaliisa akalambira nti ye pulezidenti omutuufu nga yalondebwa nga December 28, 2019.

Luyooza, eyateekebwa mu ntebe eno nga pulezidenti ow'ekiseera oluvannyuma lw'okufa kwa Hassan Ssekirime, naye agamba nti ye mutuufu kuba okulonda kwa Kaliisa tekwali mu mateeka.

Omusango gwabadde gwakuwulirwa eggulo ku Lwokusatu, wabula omulamuzi Ponsiano Odwori owa kkooti y'e Nakawa n'agwongezaayo olwa munnamateeka wa Luyooza obutalabikako.

Gwakuddamu nga November nga 11, era omulamuzi yalabudde nti gwakugenda mu maaso munnamateeka ne bw'ataabeerewo.

Bino byabadde bigenda mu maaso, ng'abamu ku b'ensambaggere bali wabweru wa kkooti n'ebipande ebiwakanya obukulembeze bwa Luyooza.

Samson Kyomukama, munnamateeka wa Kaliisa, yagambye nti Luyooza ali mu kakodyo kakumala biseera ne yeerabira nti abazannyi be basinga okufiiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...